KU ssaawa 8.30 ez’emisana, obukuba bwatandise okutonnyerera, ne yeeyongerera ddala mu bitundu by’e Lugogo.
Enkuba yeetabiseemu kibuyaga era ekyaddiridde gyabadde miranga ng’abantu balaajana
olwa siteegi y’ekivvulu kya Jose Chameleone okubagwira. Mu ngeri y’ebyewuunyo, abantu abaabadde ku Constitutional Square mu Kampala nga waliwo kiromita 4 zokka tebaalabye ku ttondo lya nkuba.
Mu kaseera mpawekaaga, abaabaddewo n’abataabaddewo e Lugogo baatandise okwebuuza ekyasudde siteegi mu ngeri ey’ebyafaayo mu nkuba etaabadde ya maanyi nnyo kyokka n’egoya ekifo kyonna awaabadde walina okubeera ekivvulu ky’omuyimbi oyo ekya Ggwanga Mujje mu kisaawe kya Lugogo Cricket Oval. Siteegi eyakoleddwa omuyimbi Steve Jean ne kkampuni ye eya Fenon Records y’emu ku zaabadde ez’amaanyi kyokka engeri gye yatikkuse n’ekkakkana ku ttaka nga bbaaluuni efumitiddwa empiso, kyalese abamu nga balowooza nti waliwo ekitali kituufu.
Ekisaawe ekyabadde ekinnyogovu olw’enkuba mu kadde kano kyasusse ku bunnyogovu
obw’ekika ekyo nga buli yakibaddemu naddala ba ‘service providers’ abavunaanyizibwa ku by’enteekateeka omuli abaamataala, ebivuga, eby’okwerinda n’abeebyokulya ng’abamu baabadde batandise n’okubyeliira, bannyogoze ng’ekiddako kibabuze.
Mmotoka za Ambyulensi ezitwala abalwadde ng’ezimu zaabaddewo mu kifo ng’amateeka g’ebivvulu bwe galagira okwerinda singa abacakaze baba bafunye obuzibu, zaatutte abamu ku baafunye obulumi ng’abamu ku bo be baabadde ku siteegi n’ebagwira.
Abamu ku bano, baabadde bagezaako okubikka amataala n’emizindaalo enkuba ereme
kubyonoona.
Amawulire agaasoose okuyiting’ana ku mitimbagano nti ekivvulu kisaziddwaamu
olwa siteegi eyagudde gaddiriddwa okukakasibwa Chameleone yennyini eyabadde n’omutegesi w’ekivvulu kino amanyiddwa nga Mariam Mutakubwa owa Biggy Events olwo ne kizzibwa nga 24 February omwaka guno.
Kino nakyo wabula kyabaddeko okusika omuguwa we bwazibidde ku Lwokutaano,
byonna bino lwe byabaddewo ng’olutalo luli wakati w’omuyimbi, omutegesi n’avunaanyizibwa ku by’okukitegeka.
Waabaddewo olukiiko olw’amangu wabula we twagendedde mu kyapa nga tekinnasalibwawo mu ngeri ey’enkomeredde anti mwabaddemu abawakana nga
baagala ekivvulu kibeewo nga 24 n’abaagala 17 omwezi guno.
Wadde nga Chameleone ye yasoose okulangirira 24, yazudde luvannyuma nti tajja kubaawo ate olwo enkaayana za 17 kwe kutandika.
Ebintu bitaano ebirondoola Chameleone NGA bwe nakugambye nti buli omu yayogedde kikye ku kyabaddewo, bangi baabadde beesibye ku mbeera omuyimbi oyo gy’azze
ayitamu oba bw’azze atambuza obulamu bwe.
Bino wammanga bye baasinze okwesibako; lRobert Karamagi Okufa kw’omusajja ono nga 26 December, 2012 kwamuteeka mu kattu. Yaggya omuliro mu maka g’omuyimbi oyo e Seguku ku lw’e Ntebe kabangali ya poliisi we yamuggya ng’aliko kikuba mukono.
Yafa oluvannyuma era nawo ebyayogerwa byali bingi ku ngeri gye yaggyamu omuliro ogwamuviirako okufa ng’ababuse yenna omubiri.
Bwe yafunye obuzibu bw’ekivvulu okuyiika, waliwo abaawanuuzizza nti empewo eyasudde siteegi, yabadde erina w’eva.
lOwa Boda boda Nga 19 January, 2023 waliwo katambi k’omuvuzi wa boda boda
akaafulumye nga Chameleone amuyisaako omutaka w’embuya.
Ono gwe yabadde avunaana okukalabula mmotoka ye ekika kya Range Rover. Yakubiddwa takutteeyo n’ekyaddiridde be baabaddewo okuvuma omuyimbi oyo
eyasimbudde mmotoka n’abaviira.
Aba boda boda abamu okuva olwo babadde tebakyalima naye kambugu.
lYazannyira ku Basiraamu Yali August wa 2011 Chameleone ne yessa mu ddene
ng’akulembeddwa omuyimbi Haruna Mubiru nga ye ali wakati emabega we nga waliyo Grace Ssekamatte mu biseera ebyo eyali yasiramuka nga yeeyita Sulaiman.
Chamelone yeesogga omuzikiti e Kibuli mu malya g’ebyemisana ku Lwokutaano Abasiraamu ne beewuunya kye yali anonye.
Kyokka olw’okuba yali ayambadde ekkanzu y’Ekisiraamu n’entalabuusi, Abasiraamu bangi baakuuma obukkakkamu balabe ekiddako.
Mu ddakiika nga 30, Juma yali ewedde ekyaddirira eyali District Khadi wa Kampala, Sheikh Siliman Kasule Ndirangwa n’ayanjulira obusiraamu bwe buvubye ekyennyanja
ate nga kinene. Ku bbali awo waali watuddeyo Jjajja w’Obasiraamu, Omulangira
Kassim Nakibinge. Abalala kwaliko eyali sipiika w’olukiiko lwa Buganda, Hajji Kaddu Sserunkuuma.
Ndirangwa yalagira Chameleone ayimirire naye n’akikola era mu kaseera katono yalagira addemu ebigambo nga bwe yali abimulagira. Ekyaddirira ye muyimbi
oyo okulangirira bwe yali asiramuse n’alonda n’amannya okuli erya Jeffery n’erya Gaddafi.
Mu wiiki bbiri zokka, Chameleone yali amaze okuva mu busiraamu n’addayo mu Bukatoliki ekyanyiiza Abasiraamu ne bakiyita okubazannyirako.
lYalina okuyimba mu kivvulu e Moroto mu January w’omwaka guno n’atagenda ekyanyiiza ennyo abaayo.
Chameleone yateeka obubaka ku mukutu gwe ogwa facebook nga yeetondera abantu b’e
Moroto olw’obutagenda kuyimba mu kivvulu kye baamusasula ng’agamba nti yabulwa
ennyonyi emutwala. Kyokka abamu baagaana okubikkiriza era ne bagenda ku mukutu gwe kwe yateeka obubaka obwo ne bagamba nti yagenderera
kubanga yali yakimanya dda ate kati ennyonyi yamuleka etya! l Obutakkaanya ne mukyalawe Daniella Atim Mu buli kintu, omukyala y’akuwa emikisa ng’omwami awaka era bagamba nti omukyala bw’atabeera musanyufu awaka n’omusajja ayinza obutakola bulungi kubanga emikisa mu bo mwe gyasibirwa! Chameleone ne mukyalawe
Daniella bazze bafuna obutakkaanya okuva lwe baagattibwa Fr. John Scolablin ku kigo ky’e Bbiina mu June wa 2008 kyokka ng’era ebyamaka gonna bwe bibeera, bibeera byakyama.
Ebya bano byasajjuse mwaka guwedde ebimu ku by’okutabuka kwabwe ne bifuluma mu bantu, Daniella bwe yalaze oludda ku byabadde bigenda mu famire ya Bamayanja nga Weasel agambibwa nti yabadde akubye mukyalawe Sandra Teta. Daniella yagenda ku social media n’alaga obutakkaanya ne bba kyokka ng’anenya maama
’abayimbi abo nti y’atabayamba. Wadde nga Daniella yayagalizza bba ekivvulu ekirungi, nakyo waliwo abaakirabye ng’ekitamala nga bagamba nti obutakkaanya
buttira Chameleone emikisa.