Amawulire

Abe Mutungo balaajanidde gv't ku mbeera y'amalwaliro

ABAKADDE mu Muluka gwe Mutungo mu Nakawa bawanjagidde Gavumenti eyongere amaanyi mu malwaliro gaayo kibayambeko okufuna obujanjabi obutuufu kubanga emyaka gyebalimu gitawaanyizibwa nnyo endwadde.

Abakadde nga bakakasibwa okufuna ensako yabwe
By: Huzaima Kaweesa, Journalist @New Vision

ABAKADDE mu Muluka gwe Mutungo mu Nakawa bawanjagidde Gavumenti eyongere amaanyi mu malwaliro gaayo kibayambeko okufuna obujanjabi obutuufu kubanga emyaka gyebalimu gitawaanyizibwa nnyo endwadde.
Bino babyogeredde Kitintale bwebabadde bafuna ensako yabwe okuva mu Gavumenti nga eyita mu kitongole ky’ekikula ky’abantu webategeerezza nti oluusi balumbibwa endwadde kyokka ate nebatuuka mu malwaliro nebatafuna bulungi bujanjabi nga kino kiteeka obulamu bwabwe mu matigga.

Abakadde nga bakakasibwa okufuna ensako yabwe

Abakadde nga bakakasibwa okufuna ensako yabwe

Ssentebe w’abakadde mu Muluka gwe Mutungo, Beatrice Katushabe Opoka yategezezza nti abakadde betaaga okufiibwako kubanga emyaka gyabwe gibeera tegikyasobola kukakalukana.
Era asabye gavumenti okukola ku ntekateeka abakadde bano babasangenga waka okubawa ensako yabwe eya buli luvannyuma lwa myezi esatu kubanga bakizudde nga abamu ku bakadde bano sente tebazifuna olw’obutasobola kuzikima.
Kyokka asiimye ekiteeso kya Gavumenti eky’okusala ku myaka abakadde bano kwebalina okufunira  ensimbi okuva ku 80 okudda ku 65 kubanga abakadde banti ababadde basubwa omukisa gino olw’okuba nga tebanaweza myaka 80.

Kansala w'abakadde mu Nakawa, Willy Turinawe nga ayogerako eri abakadde

Kansala w'abakadde mu Nakawa, Willy Turinawe nga ayogerako eri abakadde

Awagidde ekirowoozo kya Gavumenti eky’okwongeza ku nsimbi z’ensako y’abakadde n’ategeeza nti kino kijja kuyamba nnyo kubanga abakadde balina obwetaavu bungi.
Kansala w’abakadde mu Gombolola ye Nakawa, Willy Turinawe asabye abakadde bonna okweyambisa abakulembeze baabwe bababuulire ebibasomooza era bikolebweko.
Asiimye nnyo gavumenti olw’entekateka eno gy’agamba nti eyambyeko ku kutumbula embeera z’abakadde