Pulezidenti agobye ebbago ly’etteeka ly’obutale

PULEZIDENTI Museveni agobezza minisita, ebbago eriruhhamya enzirukanya y’obutale n’agaana okulissaako omukono ng’agamba nti, baabadde balireseemu obuwaayiro bwe yabalagira okuggyamu.Baabadde balimutwalidde asseeko omukono lifuuke etteeka kyokka bwe yagenze okusomamu n’akizuula ng’obumu ku buwaayiro bwe baataddemu bunyigiriza abantu ba wansi ate ne buwa enkizo abagagga.

Akatale k’e Wandegeya.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

PULEZIDENTI Museveni agobezza minisita, ebbago eriruhhamya enzirukanya y’obutale n’agaana okulissaako omukono ng’agamba nti, baabadde balireseemu obuwaayiro bwe yabalagira okuggyamu.
Baabadde balimutwalidde asseeko omukono lifuuke etteeka kyokka bwe yagenze okusomamu n’akizuula ng’obumu ku buwaayiro bwe baataddemu bunyigiriza abantu ba wansi ate ne buwa enkizo abagagga.
Mu kiwandiiko BUKEDDE kye yafunyeeko kkopi, nga Pulezidenti yeesigama ku buyinza obumuweebwa Ssemateeka nnamba 91 akawaayiro nnamba (3)(b), Pulezidenti agamba nti, etteeka lino yakizudde nga lirimu ebirumira bingi kwe kusalawo liddeyo mu Palamenti lyongere okwekebejjebwa.
Ebbago libadde liwa gavumenti ez’ebitundu okuli; ggombolola, Town Council, Munisipaali, oba disitulikiti, obuyinza okuwa abantu ssekinnoomu oba kkampuni, olukusa okuddukanya obutale n’okubusoloozaamu ssente. Pulezidenti yagambye nti, kino teyakkiriziganyizza nakyo bw’atyo n’agaana okussa omukono ku bbago lino okutuusa ng’akawaayiro kano kaggyiddwaamu.
Ebbago lino lirambika bulungi engeri enzirukanya y’obutale bwa gavumenti bw’egenda okubeera okwetooloola eggwanga, ku mitendera gy’amagombolola okutuuka ku disitulikiti.
Abamu ku beefuula ba landiroodi b’emidaala nga bagipangisa eri abasuubuzi bamufunampola ku buwanana bwa ssente nabo Pulezidenti ayagala bateekebweko akawaayiro akabakugira basobole okuva mu butale.
Yagasseeko nti, waliwo abamu ku bakozi b’ebitongole bya gavumenti abeekobaana n’ab’obukiiko obukulira abasuubuzi mu butale bwa gavumenti ne banyigiriza abantu aba wansi n’okwenyigira mu mize gy’okulya enguzi, nga nabo ayagala bassibweko amateeka amakakali.
EKIRAGIRO KYA PULEZIDENTI EKYASOOKA:
Nga September 25, 2020, Pulezidenti yawandiikira eyali Minisita w’ensonga za Kampala, Betty Amongi, ebbaluwa ng’amulagira obutale ne lufula ebiri mu Kampala, biddizibwe butereevu wansi w’ekitongole kya KCCA ku lwa gavumenti. Pulezidenti era yayimiriza mbagirawo abakulembeze ab’ekiseera abaali baateekebwa mu butale bwa gavumenti, kyokka n’asaba nti, mu kifo ky’okusolooza ssente ku basuubuzi eza buli lunaku oba omwezi, waakiri babagerekere eza buli mwaka, buli omu 78, 000/-.
Pulezidenti era mu bbaluwa ye yayimiriza eky’okusolooza abasuubuzi ssente ezisusse ku masannyalaze n’awa eky’okulabirako ekya Owino gye baali basolooza 880/-, n’agamba nti, waakiri zikendeezebwe zidde ku 750/- buli yuniti.
PAALAMENTI KY’EGAMBA:
Kkalaani wa Palamenti-Adolf Mwesige yategeezezza BUKEDDE nti, wadde nga baabadde tebannaba kufuna bbago lya tteeka erya 2021, eriruhhamya enzirukanya y’obutale ne lufula okuva ewa Pulezidenti, guno si gwe mulundi ogusoose Pulezidenti okugoba ebbago n’asaba Palamenti okubaako ennongoosereza ze batereeza.
Ow’amawulire wa pulezidenti, Sandor Walusimbi yategeezezza BUKEDDE nti, kituufu pulezidenti yalagidde etteeka liddizibweyo mu Palamenti likolebwemu ennongoosereza nga bwe yalagira