Robert Kyagulanyi Ssentamu, ayingidde disitulikiti y’e Kiboga mu maanyi wakati mu bawagizi be ababadde bakwatiridde mu kabuga k’e Ntwetwe n’ebyalo ebirala okumwaniriza.
Abamu ku bawagizi ba Kyagulanyi nga bajaganya okumulabako
Kyagulanyi yeeyamye okubawonya ekibbattaka,okubawa kkoolansi,okutumbula eby'obulamu n'ebyenjigiriza n'ebirala.
Kyagulanyi ng'atuuka
Abasabye okulonda abakulembeze bonna abali ku kkaadi y'ekibiina abanaamuyamba okubatuusako empeereza ennungi.