Bya Kizito Musoke
Uganda Martyr’s SS Kakiri baayitidde waggulu ebibuuzo bya S.6 (UACE).
Moo Marble Nakazibwe Owa Uganda Martyr's Ss Kakiri Yafunye 16 (002)
Marble Nakazibwe ye yasinze n'obubonero 18.
Akulira essomero lino, Godfrey Ssaazi yategeezezza nti Marble Nakazibwe ye yasinze banne n’obubonero 18, n’addirirwa Muhusin Opendi eyafunye 17 , Keneddy Damulira Musisi 14 ate Brenda Nankanja (14). Ssaazi yasabye abazadde okwongera okubeesiga nga babawa abaana babagunjule n’okubasomesa.