Pulezidenti Museveni asuubizza Abataka ng'atema evvuunike ku kizimbe kyabwe

PULEZIDENTI Yoweri Museveni atongozza omulimu gw’okuzimba ekizimbe Lwattamu okugenda okubeera ofiisi z’Abataka abakulu b’ebika mu Buganda.

Minisita Nabbosa Ssebuggwawo ng'akulembeddemu Abataka okusisinkana Museveni
By Dickson Kulumba
Journalists @New Vision

PULEZIDENTI Yoweri Museveni atongozza omulimu gw’okuzimba ekizimbe Lwattamu okugenda okubeera ofiisi z’Abataka abakulu b’ebika mu Buganda.

Ekizimbe kino kigenda kubeera kya  emyaliro mukaaga ng’ebiri giri wansi ate ena giri waggulu nga kisangibwa ku luguudo Kabakanjagala e Mmengo mu Kampala.

Museveni ng'ayogera n'omukulu w'ekika ky'Endiga Eria Buzaabo Lwasi

Museveni ng'ayogera n'omukulu w'ekika ky'Endiga Eria Buzaabo Lwasi

“Kati wano mbalozezzaako buloza naye ebirala tujja kukwatagana,” Museveni bwayogedde oluvannyuma lw’okutegeeza Abataka nti agenda kuzimba ekizimbe ekino ekiriiko emyaliro ena.

Museveni yasooka okusisinkana abamu ku Bataka abakulu b’ebika n’akkirizza okubagulira ettaka eryawemmenta obuwumbi 9 n’obukadde obusukka mu 500.

Ekisuubizo kino yakituukiriza era neriggulibwa olwo pulaani z’okukuba ekizimbe kino nezitandika nebakituuma erinnya Lwattamu.

Museveni ayaniriziddwa Minisita Omubeezi owa Tekinologiya, Joyce Nabbosa Ssebuggwawo, Minisita w’ensonga z’Obwapulezidenti Babirye Babalanda, Minisita w’ensonga za Kampala Hajjat Minsa Kabanda, Abataka okuli Kasirye Mbugeramu Kyadondo ate ne Eria Buzaabo Lwasi Lwomwa.

Pulezidenti Museveni ng'awuubira ku bantu

Pulezidenti Museveni ng'awuubira ku bantu

Omutaka Kyadondo ayogedde ku lw’Abataka, yeebazizza Pulezidenti olw’okubagulira ettaka lino kyokka n’amujjukiza nga bweyabasuubiza okubakwasa ekitongole ky’eggye lya Uganda ekizimbi, batandike omulimu gw’okuzimba ekizimbe kino ekigenda okuwemmenta obuwumbi 58.

“ Ssente ezigenda okuzimba ekizimbe kino, tugenda kuzinoonya, kitandikibwe okuzimbibwa. Mwanyinnaze Joyce Nabbosa bweyantuukirira n’ambulira ku nsonga z’Abataka saakirabamu buzibu okukolagana nabo kubanga twakizuula ng’Abataka gwe musingi gw’obuwangwa,” Museveni bwagambye.

Awadde eky’okulabirako ky’ebitundu omutali Bwakabaka nga Karamoja, Ankole n’ebirala nti eno bwebagendayo bakolagana na bakulu ba bika.

Ye Nabbosa yeebazizza Pulezidenti olw’okukkiriza okuyamba Abataka okwekulakulanya n’amusaba aleme kwejjusa wadde okunyiga olweekyo ekyakolebwa era naye n’ategeeza nga bwatejjusa olw’okukulemberamu Abataka n’Abatwala gyaali.

Pulezidenti Museveni ng'atema evvuunike ku Kizimbe ky'Abataka

Pulezidenti Museveni ng'atema evvuunike ku Kizimbe ky'Abataka

Abataka bano, Museveni yeyamye okubaggulira entambula eyawamu ate neyeeyamu n’okugonjoola emirerembe egiri ku Butaka bw’ekika ky’effumbe e Bakka- Busiro.

“Mpulidde nti waliwo abagaala okutwala ettaka ly’e Bakka. Ekibira ekyo nga nkyalwana kyekyantaasa nga 6/4 lwetwakuba Kakiri , kyetwayingiramu Abatanzania bwebagezaako okutuzingiramu ne balemwa. N’olwekyo mwannyinnaze Nalweyiso, looya wange gwebayita Rebecca Atwine, omusindike agende n’abantu bakwatagane n’abekika. Katonda yeyatuyamba yatuyisa mu kibira ekyo. Bagamba nti waliwo Abaagala okuwamba ettaka eryo, abammaanyi,” Museveni bwayogedde ku nsonga z’Obutaka buno.

Ekirala ekisanyudde Abataka kwekuba nti Museveni abakwasizza n’ebyapa bina ebyakakolebwako ku yiika ebbiri n’obutundu bubiri ebiri wano nga Minisita w’ebyettaka mu ggwanga, Judith Nabakooba ategezezza nti ebyapa ebirala omunaana ebibulayo bajja kubikolako n’ategeeza nti byonna 12 bajja kubigatta muveemu ekyapa kimu, kibasobozesa okutumbula enkulakulana.