Abavubuka 15 nga kuliko n'omuwala omu, bakwatiddwa mu kikwekweto ekikoleddwa poliisi n'amagye e Maya ne Nanziga.
Bonna abakwatiddwa, batwaliddwa ku poliisi e Nsangi okubetegereza n'okubasunsulamu.
Kidiridde okwemulugunya mu batuuze ku bubbi obususse mu kitundu n'okuteega abantu.
Patrick Onyango omwogezi wa poliisi mu Kampala, agambye nti omuyiggo gw'abalala gugenda mu maaso