Mmengo eronze ssenkulu wa Ssuubiryo Zambogo Sacco omuggya

MMENGO ekakasizza Benon Kivumbi okukulira ekitavvu ky’abavubuka  ba Buganda ekiyitibwa Essuubiryo Zambogo sacco ku ndagaano ya myaka ebiri.Ono yayanjuddwa Minisita w’abavubuka mu Buganda,Henry Ssekabembe Kiberu eyategezezza nti ono ebbanga lyamaze ng’akuuma entebe eno okuva October 2021 yeeraze nti  ajja kusobola okutambuza emirimu gy’ekitongole kino.

Benon Kivumbi ssenkulu wa Ssuubiryo Zambogo Sacco
By Dickson Kulumba
Journalists @New Vision

MMENGO ekakasizza Benon Kivumbi okukulira ekitavvu ky’abavubuka  ba Buganda ekiyitibwa Essuubiryo Zambogo sacco ku ndagaano ya myaka ebiri.

Ono yayanjuddwa Minisita w’abavubuka mu Buganda,Henry Ssekabembe Kiberu eyategezezza nti ono ebbanga lyamaze ng’akuuma entebe eno okuva October 2021 yeeraze nti  ajja kusobola okutambuza emirimu gy’ekitongole kino.

Kivumbi eyatandise ku ntandikwa y’omwezi guno azze mu bigere bya David Makumbi eyava mu bukulu buno mu 2021 era yategezezza nti musanyufu olw’Obwakabaka okumusaamu obwesige okuwereeza mu kifo ekinene bwekiti.

Bweyabadde alaga Kivumbi eri abantu gyebuvuddeko Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yamusabye okwagazisa abavubuka empisa y’okutereka ate n’enteekateeka zonna ezigendererwamu okwekulakulanya

Kivumbi nzaalwa ye Gomba nga yasomera Kasaka P/S,Kasaka SS,Fisherbranch Kalagala-Mpigi eno gyeyava n’agenda ku Buganda Royal Institute gyeyafunira dipuloma mu by’obusuubuzi ate oluvanyuma n’agenda ku Muteesa I Royal University n’afunayo diguli mu kuddukanya bizinensi.

Essuubiryo Zambogo sacco yatongozebwa Kabaka mu 2013 era erina bamemba 5240 nga 2022 weyawereddeko ng’eri mu nsimbi akawumbi kamu n’obukadde 400 nga Kivumbi yategezezza nti baagala 2023 wanagwerako nga bazitowa obuwumbi busatu bwatyo n’akubiriza abavubuka okwongera okutereka ate n’okusiga ensimbi.