“BWE twamala okumalirira okutandika obufumbo, lumu Ssaabasajja yansaba nfuneyo obudde nkomewo mu Uganda tutandike okutambuza emikolo. Nnasabayo ennaku ku mulimu gye nnali nkola ne nzija era ku kisaawe, Joyce ne Dan Ssebuggwawo be bankima ne bantwala ewaabwe e Mengo.
Ku olwo, ku Lwokutaano akawungeezi, Kabaka yantwala ku Ethiopian Restaurant e Kansanga n’ambuulira by’ategese tukoleremu ku wiikendi eyo.
Enkeera ku Lwomukaaga, yantwala n’andaga bannyina Abambejja: Dorothy Nassolo, Sarah Kagere, Alice Zalwango ne Diana Teyeggala nga nnabasisinkana mu Lubiri e Banda.
Enkeera ku Ssande nga February 14, 1999 ku lwa Valentayini, twesitula nze, taata bassenga n’abooluganda abatonotono ne tukyala embuga e Banda. Eno twasangayo Katikkiro Mulwanyammuli Ssemwogerere n’abakungu abalala aba Buganda. Ku olwo Ssaabasajja lwe yategeeza nti, ‘Tufunye Nnaabagereka’.”
Olwava e Banda, emmotoka yamuvuga emuzza ku kisaawe e Ntebe n’addayo mu Amerika okutandika okukola ku nteekateeka z’okuviirayo ddala okudda ku butaka, ssaako okufuna ebyetaagisa ku mbaga yaabwe.
Nnaabagereka anyumya nti, mu June 1999, omukolo gw’okwanjula gwategekebwa. Gwali mu maka ga kitaawe e Nkumba kubanga mu kiseera ekyo e Kololo gye yabeeranga yali avuddeyo. Mu mwezi gwe gumu yasaba okulekulira ku mulimu mu kkampuni ya Maximus Consulting gye yali akolera mu biseera ebyo.
Yatandika okukola ku bya ggawuni ye ssaako engoye z’emperekeze ze. Bino byatungibwa Beatrice Yiga.
AKOMAWO MU GGWANGA
Nnaabagereka ng’anyumya ku mulundi gwe yakomawo kuno ng’embaga eyengedde agamba nti: Engeri gye nnayisibwamu yandaga nti kituufu nfuuse muntu mulala, sikyali ng’omuwala owaabulijjo. Okusooka bantambuliza mu bakungu (business class) so nga bulijjo nnatambuliranga mu lukale (economy).
Ennyonyi olwatonnya ku kisaawe e Ntebe, byonna eby’okujjuza empapula byali byakoleddwaako, era n’emigugu gyange saamanya gye gyayita! Nnafulumira mu mulyango gw’abakungu (VIP) era olwafuluma ng’abamawulire bannindiridde, ssaako abakuumi n’emmotoka ezaali zirina okumperekera. Bino byonna byankuba wala, kubanga gwe gwali gusoose okubiraba, era okusooka nnalowooza nti tebyetaagisa. Buli kimu kyayitawo ku sipiidi, okukkakkana nga tuli Nkumba. Oluvannyuma nnasalawo okugenda ewa mukwano gwange Barbara Mulwana Kulubya e Nakasero okusobola okuwummula obulungi.
Mu bbanga eryo Ssaabasajja saamulabako, okuggyako ng’ebula wiiki bbiri embaga ebeewo era nga twasisinkananga bwe twabanga tugenze okuyigirizibwa eby’obufumbo obutukuvu. Bishop Balagadde Ssekkadde eyali Omulabirizi w’e Namirembe ye yatusomesa.
Lumu Ssaabasajja yampeereza akatabo aka ‘ Men are from Mars; Women are from Venus n’agattako obubaka nti; wadde sinnakasoma naye nkakasa kalimu bingi ebirungi bye twetaaga.