Poliisi e Kawempe esobodde okuziyiza abagambibwa okujingirira emikono gy’abalonzi mu bitundu eby'enjawulo mu ggwanga.
Omu ku beesimbyewo mu kuvuganya ku ntebe y'omukulembeze w'eggwanga ,Ssali Jamil Sulaiman owa Congress Service Volunteers n'abawagizi be, be bagambibwa okwenyigira mu kikolwa kino.
Onyango ng'annyonnyola.
Kigambibwa nti bino bibaddewo ku ssaawa nga 4:00 ez'ekiro ekikeesezza leero ku Central Collage Kawempe mu munisipaali y'e Kawempe mu Kampala.
Kizuuliddwa nti buli muyizi abadde yeenyigidde mu kikolwa kino, nga bamuwa shs 5000/ kyokka poliisi n'ebayoola ne ligyesita zaabwe.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Patrick Onyango, alabudde abantu okwewala ebikolwa nga bino.