OLUTALO lwa Russia ne Ukraine lwongedde okugaziwa, amawanga ga bulaaya bwe gatandise okwetegekera okulumba Russia, oluvannyuma lwa Putin okubuusiza ennyonyi ze ennwanyi mu bwengula bw’amawanga gano.
Kino kivudde ku nnyonyi za Russia ennwanyi ezibadde zeebongera mu bwengula bw’amawanga ga Bulaaya okuli Estonia, Poland ne Romania, wiiki ewedde, abazungu kye bagamba nti Putin alabika agezaako nabo kubagatta mu lutalo lwa Ukraine okwongera okugaziya ejjoogo lye.
Mu kumwanukula, Bungereza esindise ennyonyi ennwanyi ekika kya Typhoon FGR Mk4, mu ggwanga lya Poland mu kweteekateeka okuwanula ennyonyi za Russia mu bbanga singa ziddamu okwebongera mu bwengula bwa Poland.
Okusinziira ku mukutu gwa The Independent, Katikkiro wa Bungereza Keir Stammer yalabudde Russia nti obusobozi obugyang’anga babulina, nga bayita mu mukago gwa NATO era beetegefu okulwanagana naye singa taakomye kubasoomooza.
PUTIN AKUBYE BUBI UKRAINE
Putin olutalo alwongeddemu amaanyi, bw’akubye Ukraine n’ajoogooloza mu bulumbaganyi obw’amaanyi bwe yakoze mu bitundu bya Ukraine eby’enjawulo,
ku Lwomukaaga n’eggulo ku Ssande.
Mu bulumbaganyi buno, Putin yasindise ennyonyi ennwanyi ezeevuga zokka (drone) 580 ne mizayiro 40, n’akuba enfo z’amagye ga Ukraine n’amakolero, kwossa amayumba g’abantu ba bulijjo.
Amagye ga Ukraine gaategeezezza nti abantu basatu be baafiiridde mu bulumbaganyi
buno n’abalala 30 ne babuuka n’ebisago eby’amaanyi.
Pulezidenti wa Ukraine Volodymir Zelensky yalaajanidde America n’amawanga ga Bulaaya kwanguyaako okuteeka nnatti ez’amaanyi ku by’obusuubuzi bya Russia, okusobola okunyigiriza Putin akomye olutalo.
Era yayongeddeko nti Putin ali ku kakodyo ka kuwamba bitundu bya Ukraine ebiwerako, bwe banaatuuka mu nteeseganya asobole okusigazaako ebimu, era obulumbaganyi buno abukola mu bugenderevu okusobola okunafuya emitima gy’abantu ba Ukraine, n’okusaanyaawo ebintu ebibagasiza awamu ng’eggwanga, omuli amakolero, enguudo, n’amasunsuliro g’amasannyalaze, mu kaweefube w’okwongera okukalubya obulamu bwa bannansi ba Ukraine.
Ng’ayita ku mukutu gwe ogwa X, Zelensky yagambye nti Putin yakubye ebitundu ebiwerako munda mu Ukraine okuli Dnipropetrovsk, Mykolaiv, Chernihiv, Zaporizhzhia, Poltava, Kyiv, Odesa, Sumy ne Kharkiv. Wabula ne Ukraine nayo
tetudde, era mu kwanukula yasindise ennyonyi ennwanyi ezeevuga zokka, n’ekuba essengejjero ly’amafuta erya Novokuibyshevsk mu kitundu ky’e Samara, omwafiiridde abantu bana. Era omukutu gwa BBC gwafulumizza amawulire nti Ukraine yakubye essengejjero ly’amafuta eddala mu kitundu ky’e Saratov.
ZELENSKY ALAAJANIDDE TRUMP
Oluvannyuma lw’obulumbaganyi buno, Zelensky alaajanidde Trump okusitukiramu
abeeko ky’akola ku Putin, kubanga eby’okusirisa emmundu alabika si byaliko mu kiseera kino. Zelensky era yagambye nti mu lukungaana lw’ekibiina ky’amawanga amagatte olugenda okubeera e New York okumala wiiki nnamba okutandika
’olwaleero, agenda kuswama Trump ayongere okumupoloota ateeke nnatti ku Russia, ate amuwe n’ebyokulwanyisa eby’amaanyi asobole naye okuteeka ebiwundu ku Putin. Amawanga ga Bulaaya nago gatuula bufoofofo okulaba engeri gye gagenda okwangangamu Putin, alabika nga buli lukya ayongera kunywera, nga kati ennyonyi ze ennwanyi zaasindika okukuba Ukraine, aziyisa mu bwengula bwa mawanga malala bwe batalima kambugu, okuli Estonia, Polland ne Romania, okwongera okubalaga nti tebalina kye basobola kumukolako