Ekisaawe kya Hamz stadium kirondeddwa okkozesebwa mu mupiira gw'abamuzibe

Akakiiko akaddukanya emizannyo gy'abaliko obulemu aka national Olympic committee nga kali wamu ne kibiina ekiddukanya emuzannyo gyabamuzibe mu Africa ekya IBSA bironze ekisaawe kya Nakivubo okutegeka emipiira gyabamuzibe egisookedde ddala ku lukalu lwa Africa mu divizoni eyokubiri.  

Rogers Mulindwa ng'alambuza abaddukanya omupiira gw'abamuizbe ekisawe kya Hamz
By Julius Kafuluma
Journalists @New Vision

Akakiiko akaddukanya emizannyo gy'abaliko obulemu aka national Olympic committee nga kali wamu ne kibiina ekiddukanya emuzannyo gyabamuzibe mu Africa ekya IBSA bironze ekisaawe kya Nakivubo okutegeka emipiira gyabamuzibe egisookedde ddala ku lukalu lwa Africa mu divizoni eyokubiri.  
Ebisaawe bibiri byebyabadde bisongeddwamu okutegeka empaka zino okuli ekya KCCA e Lugogo ne kye Nakivubo.
Wooteri ya golden tulip nayoyalondeddwa okusuza abagenyi oluvannyuma lw'okutuukiriza ebisaanyizo byonna ebyabadde byetaagisa ekibiina kyensi yonna.  
Omukungu wekibiina ekifuga omuzannyo guno mu Africa Driss El Mountaqi okuva e Morocco nga ali wamu n'abakungu ba paralympic committee eya Uganda nga bakulembeddwa Patrick synole ne president w'omupiira gwa bamuzibe muzafaru jjagwe basoose kwekeneenya kisaawe kye Lugogo kyokka ne bakizuula nti walekaana nnyo olwomulimu gwokuzimba ekisaawe kino ogugenda mu maaso ate nga omuzannyo guno guzanyibwa mu kasirise. 

Rogers Mulindwa ng'alambuza abakungu abaddukanya omupiira gw'abamuzibe

Rogers Mulindwa ng'alambuza abakungu abaddukanya omupiira gw'abamuzibe


Oluvannyuma baagenze e Nakivubo nga eno baalambuziddwa omwogezi we kisaawe kino Rogers Mulindwa era nga omukungu Driss yatenderezza ekisaawe kye Nakivubo olwekiwempe nobusenge bwabazanyi ebituukagana nomutindo gwensi yonna.
Wabula omukungu yasabye aba Nakivubo okukola ku makubo agawerako abazanyi n'abawagizi gebasobola okukozesa okutuuka ku kisaawe kino amangu.
Tiimu taano okuli south Africa, Senegal, south sudan nabategezi aba Uganda beebamaze okukakasa okwetaba mu mpaka zino ezigenda okutandika nga 25 zikomekkerezebwe nga 30 omwezi ogujja.
Tiimu ssatu okuli Zimbabwe, congo ne Libya zaavuddemu olwensonga ezitaategeerekese.
Omuwanguzi wempaka zino ajja kugenda butereevu mu division esooka nga muno mwemuva amawanga akakiika obutereevu mu mpaka za Olympics owabaliko obulemu nempaka zensi yonna ezijja okubeerayo mu 2027