Bya Eria Luyimbazi
POLIISI erabudde Bannayuganda obuteeyibaala oluvannyuma lwa kkooti etaputa Ssemateeka okusazaamu obumu ku buwaayiro obuli mu tteeka erifuga enkungaana.
Mu musango ogwali guvunaanibwa Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine), abalamuzi mu kkooti etabuta Ssemateeka baliko obuwaayiro bwe baasazizzaamu mu tteeka eriruhhamya enkuhhaana nga bagamba nti, bukontana ne Ssemateeka.
Wabula omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga yagambye nti, poliisi erina obuwaayiro obulala mw’erina okuyita okuluhhamya n’okutangira embeera.
Yagambye nti omuntu yenna ayagala okuteekateeka olukuhhaana alina okutegeeza poliisi ng’ebula ennaku 3 n’okulambula ekifo, omuwendo gw’abantu abagenda okukungaana nga kino bwe kiba tekikoleddwa poliisi yaakulugaana okugenda mu maaso.
Yategeezezza nti, omuserikale oba ab’ebitongole by’ebyokwerinda nga bayita mu kawaayiro nnamba 68 mu tteeka erirungamya enkuhhaana basobola okuluyimiriza singa balaba nga lumenya amateeka.
Yagasseeko nti era poliisi erina amateeka amalala g’esobola okweyambisa okuvunaana abakwatiddwa nga bamenya amateeka ng’okweyambisa etteeka erifuga ebyentambula n’enguudo ng’omuntu bw’akwatibwa ng’akumyemu omuliro n’okulwonoona avunaanibwa.
Bino yabyogeredde mu lukungaana lw’abaamawulire e Naggulu ku Mmande. Mu lukuhhaana luno, omwogezi wa poliisi y’ebidduka Farida Nampiima yagambye nti wiiki ewedde obubenje 787 bwe bwabaddewo mu ggwanga.