KCCA emalirizza entegeka z’okuliyirira abaakosebwa okuyiika kwa kasasiro mu Kiteezi

KCCA erangiridde enteekateeka z’okuliyirira bannanyini mayumba agaabuutikirwa kasasiro mu Kiteezi mu August 2024, abantu abasoba mu 30 ne bafiira mu njega eyo.

KCCA emalirizza entegeka z’okuliyirira abaakosebwa okuyiika kwa kasasiro mu Kiteezi
By Sarah Zawedde
Journalists @New Vision
#Amawulire #KCCA #Kiteezi

KCCA erangiridde enteekateeka z’okuliyirira bannanyini mayumba agaabuutikirwa kasasiro mu Kiteezi mu August 2024, abantu abasoba mu 30 ne bafiira mu njega eyo.


Omwogezi wa KCCA, Daniel NuweAbine yategeezezza ku Lwomukaaga nti okukkakkanya bannanyini mayumba agaabuttikirwa kasasairo ababadde beegugunze n’abakakasa nti bagenda kuliyirirwa ng’omwaka guno tegunnaggwako.


“Mbasaba mubeere bakkakkamu kuba enteekateeka z’okubaliyirira zitambula, tusuubira okutandika mu October nga November waggwerako mwenna mubeera muweddeyo. Kabitenti yayisa ekiteeso ekikkiriza abantu bano okuliyirirwa nga ssente zaabwe zaasigalidde kuyisibwa mu minisitule y’ebyensimbi basobole okusasulwa,” NuweAbine bwe yagambye.


NuweAbine yagambye nti bagenda kusooka kuliyirira bantu 34 n’agamba nti waliwo n’abalala abalinawo poloti nabo bagenda kutunulwamu oluvannyuma.


Okusooka ekibinja ky’abaserikale abakulembeddwaamu atwala poliisi y’omu Kiteezi, Twinemukama yalumbye mu kifo, abantu abaabadde bambadde emijoozi egiriko ekifaananyi kya Museveni nga balina ettundubaali nga nalyo balyetooloozza ebipande bya Museveni ne balissawo wabula poliisi n’abagamba bagaggyewo nti bakikola mu bukyamu n’obukuumi tebalina. 


Abatuuze baamukwasizza ezimu ku bbaluwa ezaabaweereddwa ba landiroodi ezibagoba mu mayumba ekyamuwaliriza okwogera ne KCCA n’esindika omwogezi NuweAbine okubakakkanya.


Okusooka, abatuuze baalaze obweraliikirivu nti KCCA yandibaguumaaza n’ebaliyirira ennyumba ezaaliko n’ebintu oluvannyuma ne yeddiza ettaka lyabwe nga tebalina kye babawadde wabula Nuwabwine yabagumizza nti ettaka lya kuliyirirwa singa KCCA eneeraga obwetaavu bwalyo.

 

Eyali akulira banne mu nkambi, Fred Mutaawe yagambye nti obulamu bukalubye nga balandiroodi bagobye mu mayumba ge bapangisa era gabalemedde tebalina ssente zigasasula nga basazeewo okuddayo mu kasasiro


Omutuuze Julius Waguma agamba yafiirwa omukyala n’omwana wa myaka 20 n’ennyumba yaggwawo ng’abadde akolera ku mwala mwakanikira pikipiki nagwo gwakubiddwaako ekibaati.

 

Akulira poliisi ya Kasangati, Wilfred Bagenda yasabye bonna abali mu mbeera ey’okusika omuguwa ne balandiroodi okuwandiika amannya gaabwe, poliisi esobole okubakakkanya kubanga ensonga zaabwe zigenda kugonjoolwa .