UNRA yatadde ebitaala ku luguudo lwa Northern Bypass n’ekigendererwa ky’okukendeezza ku kalippagano k’ebidduka. E Kawempe byateekeddeddwa Bwaise ku Ssatu , Kaleerwe , Kisaasi , Kyebando n’awalala.
John Ssentamu ow'e Kisaasi yagambye nti okutekebwawo kwe bitaala kujja kuyambako okukendeezza ku bumenyi bw’amateeka kuba mmotoka zibadde zirwa nnyo mu kalipagaano k’ebidduka ekiwa ababbi omwagala okugula mmotoka z’abantu ng’obubbi bw’okunyakula amassimu bugenda kukenderako
Emmanuel Sserunjogi Mmeeya wa Kawempe yagambye ebitaala bino byongedde ku nkulaakulana y’ekitundu nga n’ebifo ebirala bigenda kuteekebwamu ebitaala okuli ku Nkulungo y’oku Bbiri , e Mpererwe , Kawempe ku Ttaano , ku nkulungo y'e Mulago n’awalala.
Yasabye aba UNRA nti bwekiba kisoboka ebitaala bino babiwanvuyeeko kuba bimpi nnyo ng’ate mu bitundu mwe byateekeddwa mulimu ababbi bangi abasobola okubisumululaayo ne bakuuliita nabyo.
Ebitaala Ku Nkulungo Y'oku Kaleerwe