Kkooti esaze eggoye mu gwa Simbamanyo ne Equity Bank

KKOOTI egobye omusango ogwawaabwa kkampuni ya Simbamanyo Estates Limited gwe yali yawawaabira Banka ya Equity mu 2020.

Ekyali ekizimbe kya Simbamanyo nga kati kirimu ofiisi za Minisitule y’ekikula ky’abantu n’abakozi.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

KKOOTI egobye omusango ogwawaabwa kkampuni ya Simbamanyo Estates Limited gwe yali yawawaabira Banka ya Equity mu 2020.
Omulamuzi Harriet Grace Magala owa kkooti ewozesa emisango gy’ebyobusuubuzi mu nsala gye yawadde ku Lwokutaano nga July 25, 2025, yagambye nti, looni ya nsimbi obukadde 10 eza doola (mu ssente za Uganda obuwumbi obusoba 36) banka ya Equity ze yawa kkampuni ya Simbamanyo Estates Limited zaali mu mateeka era tezaalimu bulyake oba nguzi.
Bino biddiridde omusango nnamba 198/2020, kkampuni ya Simbamanyo Estates Ltd gwe yawawaabira Equity Bank (U) Limited, Equity Bank Limited ne Bank One Limited nga yeemulugunya ku looni eya doola obukadde 10 ze yafuna okuva mu Equity Bank wakati wa 2012 ne 2014 okuzimba wooteeri ey’omulembe e Mutungo.
Wabula kkampuni ya Simbamanyo Estates yafuna obuzibu mu kusasula looni ekyawaliriza banka ezo okubowa ebintu bya nnannyini yo Peter Kamya omwali ekizimbe ekya Simbamanyo House ne wooteeri ya Afrique Suites Hotel e Mutungo.
Ekizimbe kya Simbamanyo House kyatundibwa ku nnyondo ne kigulibwa kkampuni ya Meera Investments eya Dr. Sudhir Ruparelia ate wooteeri eya AfriqueSuites yagulwa Luwaluwa Investments. Nnannyini Simbamanyo Estates Ltd, Omugagga Kamya yafa nga December 2, 2022 ng’omusango gukyagenda mu maaso.
Mu musango guno, kkampuni ya Simbamanyo yeemulugunya ku Equity Bank (U) Ltd, nti emirimu gyazo tegyali mu mateeka era nti, ne Bank One ey’omu Mauritius yamenya amateeka ga Uganda agafuga ebya banka nti, noolwekyo banka ezo tezaali mu mateeka okugaba looni era n’egattako nti, looni yalimu ebirumira bingi nga enguzi, n’obulyake.
Kyokka omulamuzi Magala mu nsala ye ey’emiko 67 yagambye nti; Equity Bank Uganda Limited, Equity Bank Limited emirimu gyazo giri mu mateeka era nti, ne Bank One terina mateeka agafuga banka mu Uganda ge yamenya mu nsonga eza looni eyaweebwa Simbamanyo