Green Schools Project ; Entebbe Comprehensive SS balwana okukuuma obutonde ku nkalaje y’olwazi okuli essomero

Khasifah Naava ne Sarah Zawadde
Journalist @Bukedde
Mar 22, 2023

MU kaweefube w’okukuuma obutonde bw'ensi, aba Entebbe Comprehensive SS baakwatagana dda n’ekitongole ky’ebitonde eby’omu nsiko ( Wild Life) ne bakola ebyo ebiyamba okukuuma obutonde bw’ensi mu ssomero lino.

Akulira essomero lino, Ruth Obella Bugeza, agamba nti, lyafuulibwa siniya mu 2001 nga lyali ttendekero lya basomesa.

Abayizi Nga Batudde Mu Kisiikirize Okusoma Ebitabo Byabwe.

Abayizi Nga Batudde Mu Kisiikirize Okusoma Ebitabo Byabwe.

Gavumenti nga tennazimbawo ttendekero waaliwo maka g’abantu n’ennimiro. Mu 2001 nga gavumenti emaze okusalawo lifuulibwe erya siniya, baayongerako ebibiina nga kati balina abayizi 1,440.

Lisangiibwa Ntebe - Kitooro - Lugonjo mu munisipaali ya Ntebe mu divizoni  B. Liri kumpi n’ennyanja Nnalubaale nga lyetooloddwa emiti n’omuddo omusimbe, egimu ku miti gyasimbibwa likyali ttendekero ate emirala yabaweebwa abeebitonde eby’omu nsiko.

Omukulu W'essomero Ruth Bugeza.

Omukulu W'essomero Ruth Bugeza.

Omusomesa Rowland Amanya,akola ku pulojekiti ya “Green annyonyola bw’ati: Entebbe Comprehensive SS lizze liyambibwako ebitongole eby’enjawulo okulaba ng’obutonde bw’ensi bukuumibwa, omuli aba Wild life ababawa emiti gye basimba, n’abekkuumiro ly’ebisolo (Zoo) nabo baabaleeterako ku miti n’ebitongole ebirala.

Ku ssomero lino waasangibwa waliwo abayizi abasomesebwa ku ngeri obutonde bw’ensi gye buyinza okukuumibwamu era pulojekiti eno we yabasangira nga beekolamu ekibiina ekikuuma obutonde bw’ensi.

Abayizi mu kusooka baali tebakimanyi nti kasasiro gwe bakuηηaanyiza mu kifo ekimu basobola okumweyambisa ne bamukolamu eky’omugaso nga kino baakiyiga pulojekiti ya ‘Green Schools ezze ku ssomero lyabwe.

Essomero we lyazimbibwa waaliwo olwazi ng’enkuba ne bw’etonnya amazzi mu ttaka gaggwaamu mangu, ate olw’okuba abantu ababeetoolodde emiti bagitema ne bazimbawo abalala ne batunda enku n’okwokya

amanda, bwe kibeera kiseera kya musana gubayisizza ddala bubi era ebizimbe munda bibeera byokya ng’abaana tebasobola kubisomeramu olw’ebbugumu.

Essomero we liri ebiswa bingi nga bwe basimba emiti egimu enkuyege zigirya ne gikala. Kalenge naye lw’akutte abayizi abamu abajjira ku maato okusoma babonaabona kuba oluusi amaato gabula ne gagenda mu kitundu kirala.

Okumansa kasasiro n’obucupa ate nga bwe buvaako okwonoona ettaka nakwo kungi.

Ettaka okuli essomero lino awasinga wa lunnyo nga kyonna ky’osimba olina kukiriikiriza okubaako ky’okuza.

Olw’omusana okubakosa nga gwayase bye basimba beetaaga okubifukirira buli kadde so ng’ebikozesebwa tebalina bimala.

Essomero lifuna ennaku ezimu ne litwala abayizi mu bitundu ebyetooloddewo ne balongoosa ekitundu, ng’ebisaaniiko tebabyokya okwewala ate omukka omubi ogubivaamu, wabula babitwala ku ssomero ne baawulamu obucupa, obuveera n’ebipapula ne bakolamu ebintu ebirala

Olusuku Mwe Balima Emmere Ya Basomesa.

Olusuku Mwe Balima Emmere Ya Basomesa.

Obusaanikira babukolamu ebiwempe kwe balinnya nga bino aba ‘Wild Life’ babibagulako. Bakolamu n’entimbe ezigulibwa aba saluuni.

Obudde obw’omusana ebbugumu bwe liyitirira mu bibiina abayizi batuula mu bisiikirize by’emiti

ebyetoolodde essomero lino mwe basomera era abatuuze bwe babalaba nabo kati kaweefube w’okusimba emiti bamutandise.

Ezimu ku pulojekiti essomero lye zikolako

Okwongera okusimba emiti n’okugirabira obulungi. Banoonya emiti gya gasiya egitakosebwa mbeera ya budde

Essomero lyenyigira mu kulima era balina olusuku lwe balabirira obulungi ng’amatooke agavaamu abasomesa be bagalya.

Baagala okutandika okusimba enva endiirwa n’ebibala mu bungi nga bwe bikula abayizi basobola okubiryako bonna.

Obuveera ne pulasitiiki bagenda kubikolamu ebiruke ebiwerako olwo bakendeeze ku bungi bwabyo ku ssomero n’okwetooloola ekitundu.

Ebintu nga bino bwe bifulumira mu mawulire kiyamba abamu ku bayizi okubaagazisa pulojekiti eno nga balabidde ku bayizi ab’amasomero amalala bye bakola  bifulumira mu mawulire ga BUKEDDE ne NEWVISION.

Ekirala, n’abantu abalala bwe basoma ku nsonga zino mu mawulire nakyo kiyambako okubaagazisa okukoppa ekikolebwa nabo ne beenyigiramu nga balabye obulungi bwakyo.

Bwe baalanga ‘Green Schools Project’ mu mawulire baagalaba era ne bateekamu okusaba kwabwe. Amanya yagenda e Kololo gye baababangulira bwe yakomawo ku ssomero n’abuulirako basomesa banne, oluvannyuma n’abuulira n’abayizi.

Obuzibu bwe basanze mu kutambuza pulojekiti eno

Abatuuze abamu bwe bababuulira ku butonde bw’ensi balufuula lutalo naddala be bagaana okutema emiti.

 Abatuuze abalala okubasaba kasasiro abayizi bamukolemu ebintu ebirala basaba ssente ze batalina.

Bandyagadde okukola amanda mu kasasiro naye ssente tebazirina. Pulojekiti ya Green Schools yaakubeerawo ebbanga lyonna kubanga obutonde bw’ensi bwakubeerawo lubeerera, era n’emiti gye basimba gya buwangaazi. Abaana abasinga ku ssomero lino bava waka era bateekateeka okuwa buli mwana omuti.

Abayizi Ba Entebbe Ss Nga Bayonja.

Abayizi Ba Entebbe Ss Nga Bayonja.

Agusimbe ewaabwe ate tubakubiriza n’okusimba emirala mu bungi. Ekitundu kyakubeera kiyonjo kuba bafuna olunaku ne bayonja kasasiro yenna ne bamukuηηaanya era ne bamukolamu ebintu eby’omugaso ebirala. Abayizi bategedde omugaso gw’okukuuma obutonde.

Abayizi abamu bayize engeri gye bakolamu ebintu eby’omugaso okuva mu kasasiro nga bayinza n’okugufuula omulimu mwe bafuna ensimbi mu maaso eyo. Abantu b’ekitundu abamu baganyuddwamu kubanga abayizi bagenda ne babayonjeza ekitundu ne kisigala nga kitukula.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});