Sipiika abogodde ku tteeka ly'ebisiyaga

Mar 24, 2023

SIPIIKA wa Palamenti , Anita Among alayidde nti tewali muntu yenna agenda kumutiisatiisa wadde okuwalampa Palamenti olw'okuba baayisizza etteeka ku bisiyaga erya  Anti-Homosexuality Bill, 2023.“Buli kye twakoze, okuteesa kwe twateesezza…etteeka ku bisiyaga lye twayisizza twakikoledde mu mutima ogw'okukakasa Bannayuganda nti  bye tukola tubikola ku lwa bulungi bwa Bannayuganda. Eno Palamenti eriwo kuweereza bantu era egoberera ebyo bye baagala, so si bantu ab'olubatu,” Among bwe yagambye.

NewVision Reporter
@NewVision

Bino Sipiika yabyogedde mu kusaba okw'okujjukira eyali Sipiika, omugenzi Jacob Oulanyah okwabaddewo ku Lwokuna ku Palamenti.
 
Yagambye nti abantu bangi baatandise okumukubira amasimu ag'okumukumu ekyamutuusizza n'okuggyako essimu ye naye n'agamba nti ne bwe banaakola batya etteeka lino lya kukola kubanga ezo si mpisa za wano.
 
“Waliwo eyankubidde ng'agamba nti bagenda kulekera awo okutuwa obuyambi nga; eddagala, ssente ez'okutuyamba okwekulaakulanya, okulekera awo okujja okulambula Uganda, ne mmubuuza nti bwe mukola bwe mutyo kiki ekinaabaawo? Omualala n'agamab nti bagenda kung'aana okugenda mu America, ddala balowooza nti nneetaaga okugenda mu America?” Among bwe yabuuzizza.
 
Mu December 2013, Palamenti eyali ekulirwa Sipiika Rebecca Kadaga yayisa etteeka erigoba kuno ebisiyaga eryaleetebwa omubaka wa Ndorwa East, David Bahati  era ne Pulezidenti  Museveni n'alissaako omukono mu 2014.
 
Kyokka etteeka lino lyasazibwamu kkooti ya ssemateeka ng'egamba nti etteeka lina lyayisibwa ng'omuwendo gw'ababaka abaessalira abalina okubeerawo ng'etteeka lino liyisibwa gwali teguwera ku lunaku lwe lyayisibwa.
 
Kati ekirindiriddwa ku tteeka lino eryaleeteddwa omubaka Asuman Basalirwa, ye Pulezidenti okulissaako omukono lifuuke etteeka nate
Related Articles

No Comment

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});