OMUKULEMBEZE w’ekibiina kya National Unity Platfform Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga “Bobi Wine” ng’ali wamu n’ababaka ba palamenti okuli Godffrey Saazi owa Ggomba East ne Wakayima Musoke owa Nansana Munisipaali bakyaddeko ku ssomero lya Kasaka Ss eryagwamu entiisa gyebuvuddeko n’abasaasira n’okubakubagiza.

Bobi Wine ng'ali ku ntaana z'abafiira mu kabenje
Kyagulanyi y’omu ku baasomera ku ssomera lino era mwana muzaale we Ggomba.Ono yasaasidde abakulira essomero lino era n’abasuubiza okubayambako okufuna ba looya abajja okugoberera ensonga okulaba ng’abazadde b’abaana wamu n’essomero bafuna obwenkanya .
Ono era yayogeddeko n’abayizi bakaawonawo n’abagumya n’okubakuutira okusigala nga bali ku mulamwa kubanga bali mu kifo kituufu ekivaamu abantu ab’omugaso mu ggwanga nga ye bwali kati .

Bobi Wine ng'ali nomuzadde w'omwana eyafiira mu kabenje
Akulira essomero Lino Jane Sserumaga yebazizza omwana waabwe Kyagulanyi okujja okubakubagiza naye n’amusaba okubayamba okulaba nga bannanyini Motoka eyakoona waakiri babayamba okuzaawo ebizimbe ebyayonooneka .
Kyagulanyi bweyavudde awo yeyongeddeyo mu maka gy’ebazaala Evelyne Namagembe omu ku baafiira mu kabenje kano era n’abakubagiza era nga wano Ssaalongo Wakakira Jjajja w’omugenzi yamutonedde Bayibuli ng’ekirabo ky’okumwebaza okujja okubalabako n’okubakubagiza kubanga babadde tebamusuubira .
Omubaka wa Ggomba East Godffrey Saazi yebazizza Kyagulanyi okujja mu kitundu kyabwe n’okujjukira essomero gyeyasomera era neyeeyama okutwala ensonga mu palameti okulaba ng’esomro liddamu okuzimbibwa obnuluungi kubanga ebizimbe ebisinga tebinazibwawo ng’abayizi bennyini bakyali mu kutya nga betaaga bubudaabudibwa .

Ekisenge ky'essomero ekyatomerwa emmotoka
Ono ayongerako nti aagenda kukwatana ne bannanyini ssomero okulaba nga bazaawo kompyuta ezayonoonenebwa abayizi baddemu okusoma .
Ye Wakayima Musoke yasabye ba kansala abakiika ku Disitulikiti ye Ggomba okulaba nga bayisa bajeti egenda okukola ku kuzaawo essomero Lino kubanga ssomero lya Gavumenti .
Wakayima era yeyamye okuyambako omubaka Saazi okulaba nga bafuna obuyambi bw’esomero lino kubanga naye yerabiddeko n’agagage nga obuyambi bwetaagisa .
Kyagulanyi era yakoze n’omukolo gw’okuggula wofiisi ya NUP mu Disitulikiti ye Ggomba gyeyayogereddeko n’abantu okwongera okwagala ekibiina kubanga kyekyokka ekirina ebirowoozo byabwe n’ebintu ebibaluna nga Bannauganda