EMISANGO gy’ebyokulonda gyongedde okuwanika ababaka emitima, kkooti esazizaamu owa Gomba East n’afuuka asoose okusazibwamu mu misango egy’ebyokulonda kw’omwaka guno.

Kirumira Eyawawaabira Ssaazi
Omulamuzi Jameson Karemani okusazaamu Ssaazi kyaddiridde omusango ogwatekebwayo Kirumira Henry Harris Kalule (NRM) ng’awakanya ebyava mu kulonda bwe bataagattako ebyava mu bifo mwenda awaali okulonda.
Akakiiko k’ebyokulonda kaalangirira Ssaazi ku buwanguzi n’obululu 10,907 ate Kalule obululu 9,156. Kalule yawaaba ng’agamba ebyava mu bifo okuli; Buyana Trading Centre, Tiginya SDA P/S, Kiziba Trading Centre (NAKE-Z) ne Buyinja Butoole P/S B e Kigongo-Lugingi tebyabalibwa wadde nga waaliyo okulonda.

Ssaazi Bw'afaanana.
Kalule era yagamba nti okulonda ku bifo okuli; Ttaba Trading Centre, Buyebeyi C/U, Kimbo Catholic Church (A-NAKA), Kimbo Catholic Church (NAKE-Z), Serumbe UMEA P/S A, Golola A, Jumbi C/U, Serumbe UMEA P/S B e Kibaka, Kindimunda Playground ne St. Peter P/S e Ngeribalya kwataataaganyizibwa.
Omulamuzi yagambye nti okulonda mu bifo 4 awataabalibwa tebyandiwadde Kalule buwanguzi ng’okusinziira ku muwendo gwabwo era Ssaazi yandisigadde awangudde wabula ebifo mwenda ebyataataaganyizibwa so nga waaliyo abalonzi 4,387.