Amawulire

Mmengo erabudde ebeemoolera ku ttaka lya Kabaka

MMENGO erabudde abaami ku mitendera gyonna okwewala okwetaba mu kubulankanya ebintu by’Obwakabaka ng’ettaka nti kyakubaleetera emitawaana.

sabawolereza wa Buganda Christopher Bwanika ng'ayogera
By: Dickson Kulumba, Journalist @New Vision

MMENGO erabudde abaami ku mitendera gyonna okwewala okwetaba mu kubulankanya ebintu by’Obwakabaka ng’ettaka nti kyakubaleetera emitawaana.

Okulabula kuno kwatuusiddwa eri abaami bano, Ssabawolereza wa Buganda Christopher Bwanika bweyabadde atikkula abantu okuva mu massaza ag’enjawulo okuli Gomba, Butambala ne Ssingo abaaleese oluwalo lwaabwe.

“Mbakubiriza okubeera abeetegefu okukuuma n’okulabirira eby’obugagga by’Obwakabaka naddala ettaka.Musanye okwewala okubeera abamu kwaabo abeetaba mu kubulankanya eby’obugagga by’Obwakabaka,”Bwanika bweyalabudde.

Mumyuka Mpenja 6,184,000/-,Ssaabaddu Maddu 7,480,000/-,Ssaabawaali Kyegonza 6,729,000/-,Ssaabagabo Kabulasoke 15,570,000/- ate okuva e Butambala Ssaabaddu Ngando 2,750,000/-,Mumyuka Kalamba 3,020,000/-, Ssaabawaali Bulo 5,040,000/-. Okuva e Ssingo Ssaabaddu Kassanda 8,450,000/- nga zonna zaabadde 56,916,300/-.

Minisita w’amawulire mu Buganda, Israel Kazibwe yasabye abantu ba Buganda okusigala nga bali bumu mu byonna byebakola era n’abakubiriza okulima emmwanyi.

Eyaliko omubaka omukyala ow’e Butambala Lydia Mirembe yebazizza Obwakabaka olw’okukola emirimu egitumbula embeera y’abantu saako n’okukubiriza abavubuka okukozesa emitimbagano okukola ensimbi. Omukolo gwetabiddwako n’Omubaka wa Gomba East mu Palamenti, Godfrey Ssaaza

Tags: