MMENGO erabudde abaami ku mitendera gyonna okwewala okwetaba mu kubulankanya ebintu by’Obwakabaka ng’ettaka nti kyakubaleetera emitawaana.
Okulabula kuno kwatuusiddwa eri abaami bano, Ssabawolereza wa Buganda Christopher Bwanika bweyabadde atikkula abantu okuva mu massaza ag’enjawulo okuli Gomba, Butambala ne Ssingo abaaleese oluwalo lwaabwe.
Mumyuka Mpenja 6,184,000/-,Ssaabaddu Maddu 7,480,000/-,Ssaabawaali Kyegonza 6,729,000/-,Ssaabagabo Kabulasoke 15,570,000/- ate okuva e Butambala Ssaabaddu Ngando 2,750,000/-,Mumyuka Kalamba 3,020,000/-, Ssaabawaali Bulo 5,040,000/-. Okuva e Ssingo Ssaabaddu Kassanda 8,450,000/- nga zonna zaabadde 56,916,300/-.
Minisita w’amawulire mu Buganda, Israel Kazibwe yasabye abantu ba Buganda okusigala nga bali bumu mu byonna byebakola era n’abakubiriza okulima emmwanyi.