Kabaka waakulabikako eri Obuganda wiiki eno - Mayiga

Apr 11, 2023

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga alangiridde nga Kabaka bw’agenda okulabikako eri Obuganda emirundi ebiri wiiki eno.

NewVision Reporter
@NewVision

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga alangiridde nga Kabaka bw’agenda okulabikako eri Obuganda emirundi ebiri wiiki eno.

Katikkiro Mayiga ng'ayogera.

Katikkiro Mayiga ng'ayogera.

Omulundi ogusooka agenda kubeera ku mukolo gw'amazaalibwa ge nga April 13, 2023 mu Lubiri e Mmengo. Omukolo gw'amazaalibwa Mayiga ategeezezza nti gwakubeera gwa bantu babale abatasukka 250.

Ate ku lwa Ssande April 16,2023,Kabaka agenda kusimbula abaddusi b'emisinde gy'amazaalibwa ge nga giri ku mulamwa gw'okulwanyisa Mukenenya.

Katikkiro wamu be baminisita ba Buganda.

Katikkiro wamu be baminisita ba Buganda.

Abantu 100000,Mayiga agambye nti bebasuubirwa okwetaba mu misinde gino bwatyo neyebaza Abavujjirizi b'emisinde okuli Airtel, Bukedde etwalibwa Vision Group, UNAIDS, Majestic Brands n'abalala.

Omukolo guno gwetabiddwako baminisita abali ku lukiiko olutegeka amazaalibwa ga Kabaka olukulirwa minisita w'ensonga z'enkizo, David Mpanga, n'omumyuka we, Dr. Prosperous Nankindu Kavuma, Noah Kiyimba ne Joseph Kawuki.

 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});