Poliisi ekutte omu ku bazigu ababbisa emmunduPoliisi

May 17, 2025

POLIISI ng’ekolagana n’ebitongole ebirala ebyokwerinda okuli; JATT CMI ne CI, ekutte omusajja ali mu kabinja k’abazigu ababbisa emmundu.

NewVision Reporter
@NewVision

POLIISI ng’ekolagana n’ebitongole ebirala ebyokwerinda okuli; JATT CMI ne CI, ekutte omusajja ali mu kabinja k’abazigu ababbisa emmundu. Oluvannyuma lw’okumunyweza abatutte gy’abadde agikwese n’alonkoma ne banne b’abba nabo era abamu ne bakwatibwa ate balala bakyanoonyezebwa.
Kiddiridde poliisi okufuna amawulire okuva mu bakessi baayo nga bwe waliwo omusajja ali mu kabinja k’abazigu ababbisa emmundu eyeekukumye ku kyalo Bulamu mu Kasangati Town Council, nga gy’asinziira ne banne ne bakola pulaani z’okubba abantu mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke yagambye nti poliisi ng’ekolera ku mawulire ag’ekikessi yakoze ekikwekweto mwe yakwatidde omusajja ono ayitibwa Imanantireganya Alfadudu, oluvannyuma lw’okukizuula nti ali mu kabinja k’ababbisa emmundu era n’ayogara banne bwe bali mu kabinja kano.
Rusoke yagasseeko nti, wabaddewo akabinja akabbisa emmundu wabula ng’abakalimu tebamanyiddwa okutuusa poliisi bwe yakwataganye n’ebitongole ebirala n’erondoola Alfadudu oluvannyuma lw’okumuteebereza era bwe yakwatiddwa n’atwala abaserikale gy’akweka emmundu.
Yagambye nti, Alfadudu abaserikale abaamukutte baamukunyizza n’ayogera nti mu kabinja ke alina b’akolagana nabo okuli amanyiddwa nga Mapengo n’omulala amanyiddwa nga Moze era emmundu bwe bamala okugikozesa nga bagiteresa munnaabwe Bumali Ivulungo abeera ku kyalo Girigir e Mayuge. Eno abeebyokwerinda gye baagenze era ne bagisangayo ng’erimu amasasi 14.
Alfadudu yabuulidde abaserikale nti bakola obulumbaganyi n’okubba abantu mu bitundu bya Kampala n’emiriraano, e Iganga, Kamuli, Mbale, Buikwe, Kayunga, Lugazi ne Njeru nga beeyambisa emmundu.
Rusoke yagambye nti poliisi ekyayigga abalala abali mu kabinja kano era nti Ivulugo ne Mukazi ababadde basula awaasangiddwa emmundu nabo baakwatiddwa. Kyazuuliddwa nti emmundu yabbibwa Mukono mu October 2024.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});