Ebikwata kumugole wa Gashumba
May 17, 2025
TUZUDDE ebikwata ku mwana-muwala Patience Mutoni Malaika eyawangudde omutima gwa Frank Gashumba.

NewVision Reporter
@NewVision
TUZUDDE ebikwata ku mwana-muwala Patience Mutoni Malaika eyawangudde omutima gwa Frank Gashumba.
Mutoni enzaalwa y’e Lwemiyaga mu Sembabule akola mu KCCA gy’alina ekifo ekisava mu kitongole ekya Administration and Transport Logistics.
Omulimu mu KCCA, Mutoni yagufuna mwaka guwedde oluvannyuma lw’okutikkirwa Diguli esooka mu Social Sciences mu Yunivasite y’e Kyambogo. Ensonda zaategeezezza nti omulimu gwa KCCA Mutoni agukola bw’asoma Diguli eyookubiri mu Public Administration mu Victoria University mu Kampala. Nga tanneegatta ku yunivsite e Kyambogo yasomera mu Lwemiyaga SS nga ne Pulayimale yagisomera mu kitundu kye kimu.
FAMIRE YA MUTONI
Mutono azaalibwa ssentebe w’eggombolola y’e Kyeera, Frank Basaza nga baazaalibwa abaana 10 (abawala 4 n’abalenzi 6).
ENGERI GYE BAASISINKANA
Ensonda zaategeezezza nti Mutoni abadde apepeya ne Gashumba mu kyama okumala emyaka ebiri nga buli omu bwe yeetegereza munne. Embeera mwe baasisinkana ensonda zaategeezezza nti yali ya byewuunyo bombi ‘amasannyalaze’ ne gabakubirawo.
Gashumba ng’amaze okusabbalala yazza mu kyama mikwano gye egy’okulusegere n’abagamba nti omukazi gw’abadde alinda okumala emyaka 20 amufunye, banne bwe baamubuuza nti y’ani era y’aliwa yabaddamu kimu nti ye, “Black BeautyEkyasinga okumutengula emmeeme ke ka ‘Natural’ Mutoni kw’ali gattako n’empisa ze ez’omwana omuwala ayatuuzibwa era eyakuzibwa z’azze yeetegereza z’agamba nti azigereegeranya ku mpisa ze yalaba awaka e Villa Maria e Masaka nga maama we azoolesa eri kitaawe.
GASHUMBA OMUKYALA YAMUGUZE ENTE 12
Gashumba ng’amaze okwekeneenya Mutoni era nga ne ‘black beauty’ akkiriza nti olulenzi olw’ebirooto bye alufunye, bakkaanya okugenda mu bakadde era mu January omwaka guno, Gashumba yasitula abantu abatawera 5 ne boolekera olw’e Lwemiyaga okusaba Mutoni mu butongole.
Enteeseganya zaagenda bukwakku, taata wa Mutoni ng’ali n’abataka b’omu kitundu baasalira Gashumba ente 20 n’obukadde 20 wabula oluvannyuma lw’okwogeraganya, bakkaanya Gashumba asasule ente 12 nga kuliko ente 8 Ennyambo (ez’amayembe amawanvu) n’ente 4 enzungu oba maleeto.
Ku nte ezo baagattako n’obukadde 10 ng’obukadde 5 alina okubusasulirawo kye baayita okusiba ku mukazi era Gashumba ng’akwata mu nsawo ng’aziwaayo.
Ente 12 zaatuuse ku buko ng’ebula ennaku bbiri emikolo okubaawo ate obukadde 5 ne busasulwa ku mukolo ogwennyini.
EBIKONGE EBYABADDEYO
Omukolo gwetabiddwaako baminisita 5 ne ba Genero ba UPDF 3: Baminisita okwabadde; Balaam, Aisha Sekindi, Anifa Kawooya, Minsa Kabanda ne Lilian Aber ate ba Genero ba UPDF kwabaddeko basatu okuli; Brig. Gen. Christopher Damulira, Brig. Gen. Godffrey Golooba ne Brig. Gen. Flavia Byekwaso.
BAASOOSE KWEKUBYA BIFAANANYI
Ng’enkola y’ennaku zino naddala ku mikolo egy’ebbeeyi bw’eri, abagole baasoose kwekubya bifaananyi nga baabikubidde ku sityudiyo emu ku luguudo Acacia mu Kampala, era abako baabadde tebannatuuka ku buko ng’ebifaananyi bitandise okusaasana ku mukitu egy’enjawulo
No Comment