Abawalabu bawadde Trump olubiri lw’ennyonyi

May 17, 2025

ABAWALABU bawade Trump olubiri lw’ennyonyi Abamerika ne bayomba. Ennyonyi eno ekika kya Boeing 747-8 erimu buli kimu eky’ebbeeyi.

NewVision Reporter
@NewVision

ABAWALABU bawade Trump olubiri lw’ennyonyi Abamerika ne bayomba. Ennyonyi eno ekika kya Boeing 747-8 erimu buli kimu eky’ebbeeyi.
Pulezidenti asobola okugibeeramu n’aba ffamire ye, abagenyi be, n’abakozi be ne bakoleramu emirimu gya ofiisi n’ebyawaka.
Erimu ebisenge n’ebitanda eby’omutindo gwa Presidential suite 3 n’ebyabagenyi abalala. Erimu ebisenge bya ofiisi Pulezidenti mw’alabira abagenyi, ofiisi mw’akolera emirimu, ebisenge mwe musobola okusabira essaala n’ebirala.
Eggwanga lya Qatar lye lyawadde Trump ennyonyi eno agikozese nga bw’abadde akozesa ennyonyi ya Pulezidenti w’eggwanga lya America entongole eyakazibwako erya Air Force One. E no nayo ekolebwa Boeing nga nakyo kika kya 747 lwakuba yo nkola nkadde, emaze emyaka 40 mu buweereza.
Gye baawadde Trump nkola mpya ng’akatabo kaayo kalaga nti, yakolebwa 2015 okusinziira ku mawulire ga BBC.
Wadde bangi mu America bawakanya Trump okukkiriza ennyonyi eno gye yasanyukidde n’agamba nti, kabonero kalungi Obwakabaka bwa Qatar ne Gavumenti yaayo okuwa America ekirabo ekirungi bwe kityo, yeewozezzaako nti, kkampuni ya Boeing yagiwa dda omulimu gw’okukola ennyonyi za Pulezidenti empya bbiri mu kisanja kye ekyasooka, kyokka na kati teziggwanga.
Gye baamuwadde wadde ekyasimbiddwa ekkuuli Abamerica, modulo yaayo y’emu n’ennyonyi ebbiri ze yalagiriza kkampuni ya Boeing ekole zisikizibwe eza Air Force One ebbiri eziriwo ezitakyatuukagana na mulembe guliko.
Ennyonyi eyamuweereddwa egula obukadde 400 eza ddoola, mu za Uganda 1,462,940,604,000/-
Yatuuka dda mu America era Trump yagirambulako mu February w’omwaka guno.
ABAGIGAANA BYE BAGAMBA
Omubaka wa Palamenti, Chuck Grassley ow’essaza lya Iowa ate nga wa kibiina kya Trump ekya Republican, yagambye nti wadde ennyonyi agikkiriza eweebwe Trump, atya nti eyinza okubeeramu tekinologiya atategerekeka n’ateeka Pulezidenti mu kattu. Abamu balowooza nti eyinza okubeerako n’obuuma obuketta entambula za Pulezidenti waabwe.
Abalala nti, egenda kusaasaanyizibwako ssente nnyingi okugiteekako eby’okwerinda omuli ebiketta omulabe. obutayitamu masasi mu bifo ebimu naddala Pulezidenti w’atuula.
Ebirala kuliko ebiri ku Air Force One eriwo essaawa eno ng’esobola okwerwanako singa ebeera erumbiddwa. Erina nayo bw’esobola okukuba omulabe okusinziira ku mukutu gwa Wikipedia.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});