Engeri gye nfaananamu yampisa omubbi ne bankuba mizibu
Apr 28, 2023
OMULAMUZI wa kkooti ento e Mengo, Amon Mugezi asindise omuvubuka ku limanda e Luzira okutuusa nga May 30, 2023 ku bigambibwa nti yasaalimbira mu maka g'omutuuze wamu n'okubba essimu.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalist @NewVision
Bya Peter Ssuuna
OMULAMUZI wa kkooti ento e Mengo, Amon Mugezi asindise omuvubuka ku limanda e Luzira okutuusa nga May 30, 2023 ku bigambibwa nti yasaalimbira mu maka g'omutuuze wamu n'okubba essimu.
Andrew Akobe Kirunda 28, ng'ono yeeyita muyimbi y'asimbiddwa mu kaguli ka kkooti ya Nateete -Lubaga e Mengo n'asomerwa emisango ebiri okubadde ogw'okubba n'okusaalimba mu maka g’omutuuze.
Kigambibwa nti nga April 11, 2023 mu Kayanja Zooni mu Ndeeba, Akobe yasaalimbira mu maka ga Derrick Ssenkezi n'ekigendererwa ky'okumunyiiza.
Ono era yavunaaniddwa ogw'okubba essimu bbiri ekika kya Itel ezibalirirwamu emitwalo 550,000/- ezaali eza Jesica Oloyo nga bino byaliwo December 8, 2023 mu Ndeeba.
Emisango gyonna yagyegaanyi wabula n'ategeeza kkooti yali anoonya nnyumba ya kupangisa olwo Ssenkezi n'agamba nti yasaalimbira ewuwe kyokka nga si kye kyali ekigendererwa.
Ayongerako nti, olw'okuba afaanana bw'atyo, abantu baamuyita omumenyi w'amateeka ne bamukakkanako ne bamukuba naye nga talina musango.
Yagambye kkooti nti ye muyimbi akubira abawagizi be emiziki nga tasobola kwenyigira mu bubbi.
Olw'okuba teyabadde na bamweyimirira, kkooti yamusindise ku limanda e Luzira okutuusa omusango lwe gunaatandika okuwulirwa.
No Comment