OMUWABUZI ku by’amateeka mu Uganda Police Force, Erasmus Twaruhukwa ayagala ababaka abeenyigira mu kukuba abasirikale baabwe bayitibwe mu kakiiko ka Palamenti ak’eddembe ly’obuntu bannyonnyole lwaki balinyirira eddembe ly’abasirikale nga bakola omulimu gaabwe.
Twaruhukwa naye alabiseeko wamu n’abakola mu poliisi evunaanyizibwa ku ddembe ly’obuntu mu kakiiko kano akakubirizibwa omubaka wa West Budama County North – Fox Odoi okunnyonnyola ku ngeri poliisi gye yakwatamu ababaka abeekalakaasa wiiki ewedde nga n’abamu engoye zaabwe zaayuzibwa mu kanyoolagano.
Agambye nti abasirikale baabwe abakazi 5 bakubibwa bubi nnyo ne bwatwalibwa mu ddwaliro lya Iran Uganda Hospital e Naguru nga ababiri ku bano bbo baabasibudde nga ate abalala bakyapooca n’ebisago.
Agaseeko nti yadde nga okucookooza kwaliwo okuva mu babaka, bbo abasirikale baabwe beekuuma obusungu ne batakwatisa lyanyi nga y’ensonga lwaki bbo ababaka tewali yafuna buvune.
Twaruhukwa agambye nti nga baanukula ebibuuzo byonna ebibabuuzibwa ku byagenda mu maaso k'olwo, n’ababaka nabo baveeyo bannyonnyole lwaki badda ku basirikale baabwe ne babatimpula okutuuka okutwalibwa ku kitanda.