Amawulire

Abaavuganya mu za Miss ne Mr Bukedde bongedde okugwa mu bintu ; Wise Man afunye emitwalo 50!

ABAAVUGANYA 10 ku fayinolo za miss ne mr. Bukedde bongedde okugwa mu bintu bwe babawadde kkavu ne sikaala za baana baabwe.

Abaavuganya mu za Miss ne Mr Bukedde bongedde okugwa mu bintu ; Wise Man afunye emitwalo 50!
By: Patrick Kibirango, Journalists @New Vision

Abaavuganya 10 ku fayinolo za miss ne mr. Bukedde bongedde okugwa mu bintu bwe babawadde kkavu ne sikaala za baana baabwe.

Wano Essanyu Nga Libula Okutta Wise Man.

Wano Essanyu Nga Libula Okutta Wise Man.

Oluvannyuma lw’empaka okukomekkerezebwa ku Theater Labonita nga ziwanguddwa Vivian Nambaziira ne Edward Kisitu,  buli omu naafuna ekyapa ky’ettaka ne ssente obukadde 10.

Ssalongo Ssamona Ng'ayimbira Abaavuganya.

Ssalongo Ssamona Ng'ayimbira Abaavuganya.

Bukedde yategese akabaga k’okwozaayoza abaavuganya bonna okutuuka ku bawanguzi wamu n’okusiima abavujjirizi akaabadde ku wooteeri ya Pacify e Wakaliga.

Ku kabaga kano, Gerald Batte owa Njovu e Estate Developers e Nansana yawadde Wise Man ne Asia Nakiryowa abaatuuka ku mutendera gw’abantu omukaaga abaasembayo emitwalo 50 buli omu, n’abaana abasooka okuvaako buli omu n’amuwa emitwalo 25.

Mukoya Ng'asiima Bukedde.

Mukoya Ng'asiima Bukedde.

Vivian Nambaziira ne Esther Nalumu abalina abaana be baweerera buli omu yamuwadde sikaala ku Njovu Junior School e Nansana mu kisulo okutuuka bwe banaamalako pulayimale.

Aba VX Brilliant Shea Butter, abavuganya 10, buli omu baamuwadde emitwalo 10 okubayozaayoza. Bano era baawadde omuwala Elsa Tawa omukisa gw’okubakubira obulango bw’enviiri n’ebizigo.

Nakiryowa Nga Bamukwasa Ssente Emitwalo 50 Ge Baamuwadde.

Nakiryowa Nga Bamukwasa Ssente Emitwalo 50 Ge Baamuwadde.

Ssaalongo Samona Kasawuli, ng’ono ye yawaddeyo n’ekifo awaabadde akabaga kano, yasanyusizza abantu n’asaba abavuganya bulijjo okusembezanga abalala n’okuyamba abali mu bwetaavu bye yayisizza mu luyimba lwe Omusubbaawa lwe yabayimbidde.

 

Kayiira yasiimye aba Njovu Estate developers, aba VX Brilliant Shea butter, aba Sumz foods n’abalala bonna abaawagira enteekateeka zino n’abasaba n’omwaka ogujja okwongera okukolagana nabo.

Nalumu Ng'asitudde Bbebi We Gwe Baaawadde Sikaala.

Nalumu Ng'asitudde Bbebi We Gwe Baaawadde Sikaala.

 Abawanguzi nga bakulembeddwa Miss Bukedde, Vivian Nambaziira baatotodde ebirungi bye bafunye mu mpaka zino naddala ettutumu ne beebaza Bukedde olw’okubassa ku mmaapu.

Ahaisibwe Ng'asikaasikanya Ekifi.

Ahaisibwe Ng'asikaasikanya Ekifi.

Tags:
Amawulire