Bya Ponsino Nsimbi
BAMMEMBA abatuula ku lukiiko ttabamiruka olufuzi olwa Uganda Muslim Supreme Council nga bakulembeddwaamu Hajji Abduil Kiyimba ssentebe wa NRM owa Wakiso bongedde okuleeta bwiino alumirizza Mufuti wa Shaban Ramathan Mubajje ku by’okutunda emmaali y’Obusiraamu .
Hajji Kiyimba yasinzidde mu lukungaana lwa bannamawulire ku Makula Gardens e Kyengera n’alaga olukalala lw’ettaka ly’Obusiraamu eritundiddwa mu myaka 22, Mubajje gyamaze ku bukulembeze.
Yategeezezza nti okutegeera bino baagenze mu kitongole ekivunaanyizibwa ku ttaka gye bazuulidde nti poloti eziwerera ddala 15 zaatundibwa era ebyapa ne bikyusibwa okudda mu mannya g’abantu ssekinnoomu nga kuliko n’omukono gwa Mubajje.
Hajji Kiyimba Ng'alaga Olukalala Lw'emmaali Y'obusiraamu Ezze Etundibwa
Zino kuliko; Plot 244, Kyadondo,162,157,13,231,231,235,147,141, Kibuga,3182 Kyaggwe, plot 158 block13 west mengo,plot2 block 2,plot 13 ne plot 159 block 13 west Buganda,plot 6 Fort portal Rd n’endala.
Ku lw’ensonga eno bano bagamba buli kimu bakikoze kyokka ng'abantu balowooza nti obuzibu babulina ku Mubajje ng'omuntu.
Bano mu kiwandiiko kye bwandiikidde ssaabawandisi wa Uganda Muslim Supreme Counncil baagala ayite olukiiko olwamangu ku Lw'okutaano lwa wiiki eno okwogera ku nsonga ez'enjawulo.
Mu nsonga zino kwe kuli: ey'okulondebwa kw’omumyuka wa Katukiro wa Busoga ku bwa ssentebe bwa Uganda Muslim Supreme Council ekikontana ne nnyingo ey’okuna akatunda (1) eya ssemateeka wa Uganda Supreme Council, okumanya obuyinza bw’olukiiko olufuzi n’engeri gye lukolamu emirimu awatali mbalirira n’ensonga z’okutunda emmaali y’Obusiraamu mu bitundu by’e ggwanga eby’enjawulo.
Yagambye nti buli muntu avaayo okuwakanya ebikolwa bya Mubajje gw’agoba nga eyakasembyeyo y’abadde ssaabawandiisi wa Uganda Muslim Supreme Council, Ramathan Mugalu gwe bagamba nti naye yagobeddwa oluvannyuma lw'okugaana okuteeka omukono ku biwandiiko ebiwa Mubajje obuyinza okutwala ssente ezaali ez’okutegeka okulonda ezaabaweebwa pulezidenti Museveni.
Nga mu kino bamaze okukungaanya emikono 162 ku 90 egy’esalira, okuyita olukiiko.
''Yadde nnali ninnya mu kimu ne Mubajje naye njagala aveeyo alage ensi nti mu bintu byonna by’atunze mu myaka 22 kuliko omukono gwange” Kiyimba bwe yategeezezza
Yagambye nti omukwano gwe ne Mubajje gubadde gwa Busiraamu nga tayinza kusigala ng’atambula naye ng’alaba yava dda ku mulamwa.
Yazzeemu okulaalika okumwambula Jjubba singa anaamusanga ng’akola omukolo gwonna mu Buganda nga Mufti.
Yagambye nti Mubajje takyaswala wabula aswaza buswaza n’anokolayo ettaka ly’e Ssembabula lye yaguza abantu basatu abenjawulo.
Ku nsonga eziri mu kkooti yagambye nti balinda lwa May 28 omwaka guno, omulamuzi okuwulira okujulirwa kwabwe.
Yayongeddeko nti ng’oggyeko ekya Mubajje okutunda emmaali y’Obusiraamu, zirimu abaliko ba ssaabawandiisi ku mulembe gwa gwe okuli Siraje Kavuma, Sseruggo Kasenene,ne Mugalu eyagobeddwa kyokka ono agamba nti Mubajje ye mutwe .
Ashiraf Zziwa Muvvawala, omwogezi wa Uganda Muslime Supreme Council yategeezezza nti ekitebe ky'Obusiraamu kiri kimu mu ggwanga ate ttabamiruka wa general Assembly atuula omulundi gumu omwaka.
Ku by'okuzuula emmaali y'Obusiraamu eyatundibwa yagambye nti bano tebalina buyinza kubanga Obusiraamu bulina olukiiko olufuzi olw'abantu 22 okuli n’abakise okuva mu buli disitulikiti era nga ssemateeka bano abawa obuyinza okugula n'okutunda kyokka nga mufuti yasembayo okuteekako omukono kukiba kisaaliddwawo.
Bano yabasabye okuleeta obujulizi ku mmaali y'Obusiraamu yonna eyatundibwa Mufuti ng'omuntu ng'olukiiko olufuzi terusazeewo.
Yabajjukiza okukuuma ebiragiro bye baakola naddala eky'okukuuma ebyama by'Obusiraamu era n’alaga okwejjusa olw'Abasiraamu okulonda abakulembeze abatalina bisaanyizo okuli ne ky’obuyigirize obwa S.6 obutandikirwako.