Hajji Haruna Kasolo akyadde e Mmengo okutegeeza Katikkiro enteekateeka y'okwesimbawo

MINISITA Omubeezi avunanyizibwa ku nsimbi z'obwegassi, Hajj Harunah Kyeyune Kasolo akiise e Mmengo okutegeeza Katikkiro enteekateeka ze ez'okwesimbwawo ku kifo ky'Omumyuka wa Ssentebe w'ekibiina ky'ebyobufuzi ki National Resistance Movement atwala Buganda.

Katikkiro ng'ayaniriza Hajji Nadduli ne banne abakyadde e Mmengo
By Dickson Kulumba
Journalists @New Vision

MINISITA Omubeezi avunanyizibwa ku nsimbi z'obwegassi, Hajj Harunah Kyeyune Kasolo akiise e Mmengo okutegeeza Katikkiro enteekateeka ze ez'okwesimbwawo ku kifo ky'Omumyuka wa Ssentebe w'ekibiina ky'ebyobufuzi ki National Resistance Movement atwala Buganda.

Kasolo azze ne Mukyala we Dr. Ruth Aisha Kasolo agambye nti abadde tasobola kugenda mu lwokaano nga tazze mbuga kuloopa nsonga zino ng'ayagala emikisa gya Bajjajjabe gimutambulireko, atuuke ku buwanguzi.

Katikkiro ng'asiibula Kasolo ne banne abamukyaliddeko e  Bulange Mmengo

Katikkiro ng'asiibula Kasolo ne banne abamukyaliddeko e Bulange Mmengo

Mu kumwaniriza, Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ng'ensonga y'obukulembeze bweri enkulu mu ntambuza y'eggwanga n'enkulakulana yaalyo bwatyo neyeebaza Kasolo olw'okuvaayo okuwa obukulembeze.

Mayiga era yekokkodde effujjo erize lirabikira kamyufu ka NRM bwatyo n'asaba nti okulonda okwa bonna okunabeerawo ku ntandikwa y'omwaka ogujja, kusaanye kubeere kwa mirembe.
Minisita Kyeyune Kasolo awerekeddwako Hajj Abdul Nadduli ng'ono yaliko ssentebe wa NRM mu Buganda, Meeya we Ntebe eyawummula Steven Kabuye, Meeya we Kira eyawummula Mamerito Mugerwa n'abakulembeze abalala.

Katikkiro ng'ayogera ku bugenyi bwa Haruna Kasolo ne banne

Katikkiro ng'ayogera ku bugenyi bwa Haruna Kasolo ne banne

Ate mu kwaniriza omugenyi we, Katikkiro Mayiga abadde ne Baminisita okuli Noah Kiyimba owa Kabineeti, Olukiiko n'Abagenyi, Hajj Amisi Kakomo ow'ebyobulimi ate ne Joseph Kawuki nga ye Minisita wa gavumenti ez'ebitundu mu Buganda.

Okulonda kwa Bammemba ba CEC kuli mu ggiya ng'abantu abawerako be bavuddeyo okwesimba ku kifo kino ekirimu, Godfrey Kiwanda Ssuubi naye eyazeemu okwesimbawo.