'Bannayuganda mwettanire enkola YA 'BUBU' okutumbula ebyenfuna by'eggwanga

BANNAYUGANDA basabiddwa okwettanira enkola y’okuwagira ebintu ebitandikiddwa wano mu ggwanga ‘BUBU’ kisobole okutumbula ebyenfuna by’eggwanga n’okuleeta abalambuzi abangi mu ggwanga okubirambula.

'Bannayuganda mwettanire enkola YA 'BUBU' okutumbula ebyenfuna by'eggwanga
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

BANNAYUGANDA basabiddwa okwettanira enkola y’okuwagira ebintu ebitandikiddwa wano mu ggwanga ‘BUBU’ kisobole okutumbula ebyenfuna by’eggwanga n’okuleeta abalambuzi abangi mu ggwanga okubirambula.

Sanjay Rughani akulira Standard Chartered Bank agamba ebintu ebitandikibwa wano mu ggwanga bwe bitafiibwako eggwanga lifiirwa ssente nnyingi ezaalibadde zireetebwa abantu abayingira eggwanga.

Rughani okwogera bino abadde awaayo ssente obukadde 150 okuwagira emisinde gya Tusker Lite Mt Rwenzori egigenda okuddukibwa e Kasese mu mwezi guno.

Sanjay Rughani, akulira bbanka ya Standard Chartered

Sanjay Rughani, akulira bbanka ya Standard Chartered

Yagambye nti emisinde gino bwe giwagirwa mu ngeri ey’omulembe kyakutumbula ebyobulambuzi mu ggwanga n’ekitundu ky’e Kasese okufuna enkulaakulana ey'omulembe.

Kuno gattako abantu mu kitundu kino okufuna emirimu naddala abo abalina ebisulo, abatunda emmere ku makubo n’abo abantu abagenda okudduka emisinde gye bayitira mu bifo ebyenjawulo.

Emisinde gya Tusker Lite Rwenzori Marathon gyakuyindira Kasese ku Lwomukaaga August 23, 2025 nga mulimu okudduka kiromita 42, 21, 10, ne 5 era omuwanguzi wa kiromita 42 mu baami n’abakyala waakufuna obukadde 10, owa 21 obukadde 7 wamu n’ebirabo eri abanaddirira gattako n'abo abaliko obulemu.

Emisinde gigendereddwamu okusitula ebitone mu ggwanga, okutumbula ebyobulambuzi mu ggwanga, okuwa emirimu abantu b’omukitundu wamu n’okukuuma obutonde mu mbeera yaabwo.