Ekivundu kya kasasiro kisattizza abe Banda

Abantu nga bagogola omwala
By Huzaima Kaweesa
Journalists @New Vision

ABATUUZE bomu Kasenyi Banda B III mu gombolola ye Nakawa bekokkola obucaafu n’ekivundu ebisaanikidde ekitundu kyabwe era nga beraliikirivu nti bagenda kufuna obulwadde obuva ku bucaafu buno.

Eky’obucaafu okuyitirira mu kitundu bakitadde ku bamu ku bannabwe abatayagala kugambwako ku kukuuma obuyonjo nga bano bajjuza emyala kasasiro omuli ne kazambi nga n’omu bamusibira mu buveera nebamukasuka neku mabaati ga bannabwe olwobutabeera na kaabuyonjo.

Kasasiro

Kasasiro

Mary Nanziri ow’abakyala mu kitundu kino agamba nti ekizibu kisinga kubeera ku myala egiyita mu bantu wakati kyokka nga abantu tebaagala kugikuuma nga miyonjo.

Ategezezza nti kyannaku nnyo nti abantu bennyini ababeera mu kitundu kino ate bebacaafuwaza ekitundu kyabwe nga berabidde  nti bebajja okukwatibwa endwade zino wamu n’abaana baabwe kubanga nabo bazannyira mu kitundu kino.

Yekokodde ekivundu ekisusse mu kitundu kyabwe ky’agamba nti kiva ku kazambi abantu gwebasuula mu myala nga n’abamu bamusibira mu kaveera nebamukasuka ku mabaati ga banabwe.

Alaze okutya nti embeera eno bw’etaakolebweko mu bwangu boolekedde okufiirwa abantu baabwe olw’endwadde.

Asabye abakulembeze naddala mu KCCA okufaayo okulaba nga bateekayo enkola zonna okuggya kasasiro mu bantu kubanga abantu bangi mu kitundu nga  buli abantu lwebabulwa webamusuula n’ekivaamu kumukasuka mu myala.

Peninah Ruzigura omutuuze mu kitundu kino akitadde ku bam uku batuuze bannabwe abaliimisa ab’obuyinza naddala mu budde bw’ekiro nebayiwa kasasiro mu kitundu kino nga bamwekanga ku makya.

Enkuba oluba okutonnya nga amazzi gayingira mu mayumba g’abantu kubanga emyala gibeera gijudde kasasiro ne kazambi nga amazzi tegalina wegayita.

Kansala w’ekitundu kino Ismail Mukoiko ategezezza nga abantu bwebasoloozebwa sente z’omusolo kyokka nga obuzibu tebabaddika kubakolera ku nsonga zaabwe ezibaluma.

Kasasiro

Kasasiro

Anokoddeyo sente z’omusolo gw’amayumba ezisoloozebwa mu bantu nga zirina okukola ku nsonga nga emyala n’ebirala kyokka nga tebikolebwako nga bwebiteekeddwa kukolebwa.

Ategezezza nti singa emyala gyonna egibayitamu gizimbibwa bajja kusobola okutangira ebizibu byonna ebiva ku bucaafu olw’emyala egiri mu mbeera embi.

Akukkulumidde ab’ebyalo ebibalinanye ababasombera kasasiro nebamusuula mu kitundu kyabwe mu matumbi budde n’asaba n’abatuuze nabo okwekolamu omulimu nga basunsula kasasiro avunda n’atavunda kiyambeko okulongoosa ekitundu kyabwe.

Ssentebe w’ekitundu kino, Ben Nangabo ategezezza nga bwebagenda okuttukiza ebikwekweto ku bantu abasuula kasasiro mu myala n’okufuuza abo bonna abanasangibwa nga tebalina mwebakuumira kasasiro.

Asabye Gavumenti eveeyo egogole emyala gino n’okugizimba kubanga y’engeri yokka gyebajja okulongoosa ekitundu.

Akukkulumidde abamu ku balandiloodi abalina amayumba mu kitundu kino kyokka nga si mwebabeera nti bno tebafuddeyo kuzimba kaabuyonjo ku mayumba gaabwe n’abalabula nti singa banaakwatinbwako baakuggalirwa.

Asabye gavumenti okuvaayo bateekese amateeka g’obuyonjo mu nkola kubanga singa banagayaala abantu batuuse okufiirwa obulamu bwabwe olw’obucaafu.