ABATUUZE ku byalo okuli Kasalosalo- Kyebando ne zzooni – Bukoto bakalambidde nti si baakuva ku ttaka lya Law Development Centre erigambibwa okuba nti baalibaguza mu bukyamu mpaka nga baliyiriddwa ekimala.
Leero akakiiko ka Palamenti akalondoola ensaasaanya y’omuwi w’omusolo keesitudde ne kagenda ku ttaka lya yiika 4 n’ekitundu ng’ekitundu ekimu ku lyo kiri mu diviizoni y’e Nakawa ate ekirala mu Kawempe.
Ababaka Nga Balambula Ekitundu Ku Ttaka Lya Ldc Eryazimbibwako 15
Lino lyali lya LDC emyaka 10 emabega wabula nga we butuukidde leero nga lyonna abatuuze balyesenzezzako kyenkana kulimalawo.
Ettaka lino eribalibwamu obuwumbi 10 kigambibwa nti LDC yaligula ku bantu abamu era n’ebaako abakoozi baayo b’erikwasa okulikuuma okuli abategereseeko nga Abdul Kaggwa ,Hassan ne Kamagu wabula mu 2019 abantu baatandika okulyesenzaako nga bagamba bano bennyini be baalibaguza.
Ekimu Ku Kizimbe Ekyazimbibwa Ku Ttaka Lya Ldc 15
Abatuuze bategeezezza nti bwe baabasaba okwamuka ettaka mu 2019, baaliko 167 nga baali basabye obukadde 600 okulivaako wabula nga kati bali eyo mu 205 ate nga olw’enkulakulana ettaka lyalinnya nga tebakkiriza kuvaawo nga tebaweereddwa ssente zimala.
Justus Waneni omu ku batuuze abaluddeko olunywe olusonze ku bassentebe b’ebyalo bagambye nti bakolanga gwekussa ne baguza ne batalabula bantu nti ettaka lye baali baagula liriko bannannyini lyo.
Wabula, ssentebe wa Mulimira zzooni James Kakooza asambazze eby’okuba nti baalya ssente ku bantu nga babawa sitampu n’agamba nti ze batwala ziri mu mateeka kutambuza mirimu gya ofiisi.
Ssentebe w’akakiiko ka PAC Muwanga Kivumbi agambye nti waliwo obulagajjavu obwakolebwa nga LDC ettaka yalifuna tekuli batuuze wabula ate abakoozi baayo bennyini ne batandika olitunda nga n’abamu badduka dda.
Ensonga zino baazikwasiza poliisi ya CID okunoonyereza ku butya abantu bwe beesenza ku ttaka lino.