MUNNAMATEEKA ateryantama Isaac Ssemakadde Kimeze amanyiddwa ennyo mu kulwanirira eddembe lya batalina mwasirizi awangudde akalulu k’obwa Pulezidenti bw’ekibiina ekigatta ba looya.
Ssemakadde bweyesimbawo bannayuganda abamu tebasooka kulowooza nti ayinza okuwangula akalulu kano kubanga okwawukana ku banne babadde avuganya nabo okuli Moses Atukunda ne Kenneth Kipaalu babadde bayambala amasuuti kyokka ye Ssemakadde nga ayambala ovulo ng’ate asibye enviiri z’ekiraasi.
Wadde oluvannyuma Kenneth Kipaalu yavudde mu lw'okaano n'alulekamu Ssemakadde ne Atukunda abadde ssabawandiisi w’obukulembeze bwa Benard Oundo abadde Pulezidenti waabwe okumala ebisanja bibiri okuva mu 2022 teyamulabiza ku njuba,
Ssemakadde owa “Legal Aid” abangi gwe babadde bakazaako erya “Legal Rebel” yafunye obululu 2101 ate Atukunda n'afuna 890.
Okulonda kuno kwabadde ku Speke Resort Munyonyo ku Lwomukaaga nga September/28/2024.
Anthony Asiimwe yawangudde Fatuma Omar n’obululu 50, ku kifo ky’omumyuka wa Pulezidenti w’e kibiina kya ULS ate Philp Munabi n'alondebwa okubeera Ssabawandiisi wa ULS ng’addira Moses Atukunda mu bigere.
Ssemakadde yeebazizza nnyo ba looya banne abamutaddemu obwesige okumulonda nga Pulezidenti waabwe owa “Uganda Law society” [ULS] nga addira Benard Oundo mu bigere.
Yagambye nti obuwanguzi buno si bubwe yekka nga Ssemakadde wabula bwa ba looya bonna abakkiririza mu bwenkanya ne nkola eya mateeka etasosola.
Yasubizza obukulembeze bwe okubeera obweruufu nga butukkiriza ebyo ba loola banne ne bannayuganda okutwaliza awamu abaabadde bamuwagira bye bamusubiramu
Yagambye nti ye alondeddwa ku lwanirira ddembe lya ba loola banne era abo ababaddeko ebibadde bibakwasa ensonyi okwogerako ng’ate binnyigirira obuweereza bwabwe ye by’agenda okutandikirako.
“Nsaba buli alina kyayagala okunnyamba nkubira essimu ne bwezibeera ssaawa 9:00 ogw’ekiro ngenda ku gikwata kubanga mu mpadde obuvunaanyizibwa okubaweereza tusobole okuggya ennyanya envundu mu kisero” Ssemakadde bweyategezezza.
Akulira akakiiko k’ebyokulonda mu ULS , Moses Mwase yeebazizza nnyo akakiiko k’ebyokulonda ak’e ggwanga akabayambye ennyo okulaba nga okulonda kwabwe kubeera kw’amazima n’obwenkanya.
Mwase yagambye nti okulonda kw’omulundi guno kugenda kusigala mu byafaayo olw’omuwendo gw’abalonzi ogw’abadde waggulu ekitabaddewo bulijjo,
Akakiiko ka “Uganda Law Society” [ULS] katondebwawo okulaba nga kalungamya empisa zaba looya mu ngeri gye bakolamu emirimu gyabwe mu Uganda.
SSEMAKADDE YANI?: Bwe yali akyali ku LDC y’omu ku batandikawo “Legal Brain Trust”. Era y’omu kuba looya asinga okulwanirira eddembe ly’abo abatalina mwasirizi gattako ne ddembe ly’obuntu.
Nga yakamala okusoma yasooka kukoleerako mu FA Mpanga [Bowmans] oluvannyuma batandikawo “Legal Aid