Poliisi eyodde abagambibwa okutigomya Kawempe mw’ekwatidde n'eyatoloka ku kabangali ya poliisi nga bamutwala mu kkooti ku misango gy'okuteega abantu mu kkubo.
Ekikwekweto kino kyakoleddwa ku poliisi y’oku Kaleerwe eduumirwa Asp Rogers Musana oluvannyuma lw’abatuuze okwemulugunya ku bavubuka abateega abantu ne babanyagulula.
Ebiragalalagala Bye Babasanze Nabyo Omuli N'emisokoto Gy'enjaga 1212
Bano baasangiddwa mu bifo eby’obulabe. Mu kikwekweto kino baakwatiddemu n’omuvubuka Joseph Ssali eyattoloka ku kabangaali ya Poliisi nga bamutwala mu kkooti ku misango gy’okuteega abantu.
Omulala Ku Baakwatiddwa
Mu balala abaakwatiddwa baasangiddwa n'ebiragalalagala ng'abamu basangiddwa bakubiddwa nga tebamanyi bigenda mu maaso.
Rogers Musana, atwala poliisi y’oku Kaleerwe yagambye nti Ssali yakwatibwa mu December w’omwaka oguwedde oluvannyuma lw’abantu ab’enjawulo okuwaako obujulizi mu kuteega abantu n’abakuba wabula, mu kumutwala mu kkooti ya LDC, yabuuka ku kabangali ya poliisi n’adduka.
Mu kikwekweto ekyakoleddwa mwe baamukwatidde baamukwatidde nga yagguddwako n’omusango omulala ogw’okutoloka ng’omusango guli ku ffayiro nnamba CRB 1063/2024.
Yagambye nti mu baakwatiddwa mulimu ababadde banoonyezebwa ku misango egitali gimu era yasabye abatuuze obutabikkirira bakyamu.
N’abakulembeze yabasabye okukwatagana ne poliisi okulaba nga balwanyisa obumenyi bw’amateeka.
Ssali mu kwewoozaako yagambye nti yali amanyi ke yabuuka ku kabangaali ya poliisi abaserikale baabivaako n’asaba ekisonyiwo.