Owa booda ali ku gwa ssasi

OWA boda boda agambibwa okusangibwa n’essasi mu Kampala asindikiddwa ku limanda mu kkomera e Luzira luvannyuma w’okusimbibwa mu kkooti ne yeegaana omusango.Omulamuzi wa kkooti ya

Ejidra
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

OWA boda boda agambibwa okusangibwa n’essasi mu Kampala asindikiddwa ku limanda mu kkomera e Luzira luvannyuma w’okusimbibwa mu kkooti ne yeegaana omusango.
Omulamuzi wa kkooti ya
LDC e Makerere, Conrad Olobo Oloya yasindise Bosco Ejidra, 18, omutuuze w’e Maganjo mu kkomera ku bigambibwa nti yasangibwa n’essasi mu bumenyi bw’amateeka. Kigambibwa nti nga September 1, 2024 ku luguudo lwa Martin Road mu Kampala, Ejidra yasangibwa n’essasi nga talina lukusa. Guddamu October 14.