Ebijanjaalo bigudde ebbeeyi abasuubuzi ne balaajana

ABASUUBUZI b’ebijanjaalo balaajana olw’ebbeeyi yaabyo eyongera okukka buli olukya. Mu kiseera kino kkiro y’ebijanjalo okuli;Nambaale n’ebya kyenvu eri wakati wa 2500 ne 2800 okuva ku 4,000 gye byatandikira nga sizoni y’amakungula yakatandika.

Omusuubuzi w'ebijanjaalo ng'annyonnyola embeera gyebalimu
By Moses Kigongo
Journalists @New Vision

ABASUUBUZI b’ebijanjaalo balaajana olw’ebbeeyi yaabyo eyongera okukka buli olukya. Mu kiseera kino kkiro y’ebijanjalo okuli;Nambaale n’ebya kyenvu eri wakati wa 2500 ne 2800 okuva ku 4,000 gye byatandikira nga sizoni y’amakungula yakatandika.

“Mu June,kkiro y’ebijanjaalo ebadde esuubulwa 4,000 kyokka mu kisera kino ogifunira ne ku 2,500 ekintu ekiviiriddeko abalimi n’abasuubuzi okukosebwa munkola y’emirimu gyabwe,” Hadija Nakanyike,omu ku basuubuzi b’ebijanjaalo okuva mu katale ka St.Balikuddembe bwe yategeezeza wakati mu nakku.

Yawagiddwa Asuman Lutaaya, omu ku balina sitoowa y’ebirime eby’ensigo mu Kisenyi,eyalaze obulumi bwe bayitamu mukiseera kino kye yayise eky’e kidibo.

“Ogenda n’osuubula ensawo ku 2800 buli kkiro,kyokka obeera wakagituusa mu sitoowa bano ne basuubula ebiri ku 2700, olwo n’ekusalirawo 10,000.

Ate bwotofuna kasitooma abikuggulako k’olwo,enkeera ogenda okuwulira nga bisaze ebbeeyi mu 2,600, noomaliriza nga bikusaze 20,000,” bwatyoLutaya bwe yategeezeza.

Abasuubuzi bagamba nti mu kiseera kino bafiirwa ssente eziri wakati wa 10,000 ne 50,000 ku buli nsawo gye basuubula ne tatundibwa ku lunakku lwe bagigguliddeko olw’ebbeyi okukka kumpi buli lunakku.

Era abamu batandise okutya okubisuubula okutuusa ng’ebbeeyi yabyo mu katale eteredde.

Ekisinga okweeralikiriza abasuubuzi ,kwe kubeera nga ne bakasitoma abatera okubibasuubulako okuva mu madduuka agenjawulo nabo batya okubibaggulako mu bungi olw’okutya okubasala nga babitundira munkola ya lejaleja mu bitundu byabwe. Ate abalala beeyambisa embeera eno eya buli musuubuzi okubayayaanira okubadondola kubanga babiggula ku banabwe abalina ebya layisi ddala basobole okubifunako amagoba agawera.  

Bino we biggidde nga sizoni y’amakungula yatandise omwezi oguwedde(July) ekiviiriddeko ebbeeyi y’ebirime ebimu okuli,ebijanjaalo,amatooke,ebinyweebwa,kawo n’ebirala okukakana mu katale.

Wadde ng’embeera eno abali baabyo basanyuffu olw’okubanga ebayamba okusasaanya ssente ntono okubiggula,kyokka abasuubuzi bakukuluma olw’obutabeerawo bbeeyi emanyiddwa kwe babisiuubulira n’okubitunda mu bakastoma baabwe.