"Abakristu mukolere wamu kitole ku lw'obulungi bwa Eklezia"

EKISOMESA ky'omutukuvu Balikuddembe e Kasangati, nga  bayita mu Bubondo obutaano balonze olukiiko lwakyo oluggya olugenda okumala ekisanja kya myaka esatu.

"Abakristu mukolere wamu kitole ku lw'obulungi bwa Eklezia"
By Moses Nyanzi
Journalists @New Vision

EKISOMESA ky'omutukuvu Balikuddembe e Kasangati, nga  bayita mu Bubondo obutaano balonze olukiiko lwakyo oluggya olugenda okumala ekisanja kya myaka esatu.

Bwanamukulu Faaza Jude Makanga akulisizza abalondeddwa n'abasaba okukolera awamu ku lw'obulungi bwa Eklezia.

Okulonda kubaddewo mu bisomesa byonna ebikola Gayaza okutuukira ddala e Lubaga

Obubondo kuliko; Kasangati A ne B, Kazinga, Wampeewo ne Kyankima.

Eyakuliddemu Okulonda Ali Wakati Ng'abala Obululu Ku Kimu Ku Bifo ebyalondeddwa.

Eyakuliddemu Okulonda Ali Wakati Ng'abala Obululu Ku Kimu Ku Bifo ebyalondeddwa.

Okulonda okwakubiriziddwa Musomesa Ddoola Tinato okuva e Kabubbu,kugenze okuggwa nga;

Ssabakristu Ssaalongo John Kitasimbwa abaddeko azziddwaako nga tavuganyiziddwa, amyukibwa_Patrick Muzingu Omuwanika ye Tonny Bazira,Omuwandiisi ye Judith Nakalembe, ow'amawulire Robert Mpoza, Owakalitasi n'obutonde bw'ensi, ye Mike Ssengendo, Ow'obwenkanya n'eddembe Emilly Kitto Mwaka, Ssabafumbo ye Ponsiano Ssembatya, Nnabafumbo ye Gladys Zzaake, Ow'eby'entendereza ye Betty Nazziwa Ddondo, okuyitibwa okw'enjawulo ye Francis Kakyeke, ow'ebibiina bya Paapa ye Maria Kabugo, Omusamaria Omulungi ye Agnes Nabaccwa, Ow'abakazi Abakatuliki ye Stella Nakku, Ow'abaami Abakatuliki ye Tom Miiro, Ow'ebibiina by'enkola Enkatuliki ye Jane Ssembatya.