Omuliro gukutte ebibanda by'embaawo era ebintu ebiwerako ne biggya e Bwaise.
Gubadde Bwaise Business Complex mu Industrial Area mu Kawempe munisipaali mu Kampala era ebintu ebibalirirwa mu buwumbi ne bisirikka.
Gukutte ku saaawa nga Mukaaga ogw'ekiro ekikeesezza leero ne gusaasaanira ebibanda by'embaawo ne zibengeya.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Patrick Onyango, agambye nti bafubye omuliro ne baguzikiriza naye ng'ebintu bingi bisirisse n'agattako nti bakyanoonyereza.