Ab’omu Kisenyi bafiiriddwa bya bukadde mu muliro

ABASUUBUZI n’abatuuze mu Kisenyi bakaaba olw’omuliro oguzze gukwata ne gwokya ebintu byabwe.

Omuliro gusaanyizzaawo emmaali n’ebintu by’abasuubuzi mu Kisenyi.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ABASUUBUZI n’abatuuze mu Kisenyi bakaaba olw’omuliro oguzze gukwata ne gwokya ebintu byabwe.
Ekifo ekyakutte omuliro kiri mu Kakajjo Zooni era ebyayidde kwabaddeko amaduuka agatunda ebyamaguzi, sitoowa, ebbaala, loogi n’ennyumba ezisulwamu.
Omuliro gwatandise ku ssaawa 1:00 ey’oku makya ku Lwokuna era gwasanze abamu baagenze dda ku mirimu.
Ababaddewo baategeezezza nti, omuliro gwandiba nga gwavudde ku munnaabwe eyakyawaganye ne mukyala we eggulo oluvannyuma lw’omukukwata n’omusiguze n’alabula omukyala nti, agenda kumukola ky’atalabangako.
Balumiriza nti, omusajja ono yageze mukazi we n’omusiguze nga bali mu nnyumba n’akoleeza omuliro gubasaanyeewo ne gwokya akazigo ne gusaasaanira n’ekifo kyonna. Amaka ga Ssentebe w’ekyalo Kakajjo Geoffrey Kakande nago gaasaanyeewossaako amaduuka.
Omu ku bannannyini maByayumba, Nnaalongo Maria Kyenda yagambye nti, teyasigazza kantu.
Mu kifo ky’ekimu gye buvuddeko omuliro gwakwata ne gusaanyaawo ebintu n’okutta abaana basatu be gwataayiriza mu nnyumba.
Omwogezi wa poliisi atwaala Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango yagambye nti, abaserikale baayanguye ne basobola okutaasa ebintu bingi kyokka bakyagenda mu maaso n’okunoonyereza ekyavuddeko omuliro.
Mmeeya wa Kampala Central Salim Uhuru eyabaddewo yasaasidde abaakozeddwa n’agamba nti, basaana kuyambibwa