Abantu 4000 bakozesa kaabuyonjo emu mu kanyogoga zooni e Makindye

ABATUUZE mu munisipaali  ye Makindye mu kanyogoga Zooni bawanjagidde KCCA okubazimbira Kaabuyonjo olw'okumala ekiseera nga bakozesa kaabuyonjo emu yokka mu kitundu kyabwe.

Kaabuyonjo eyogerwako
By David Lukiiza
Journalists @New Vision

ABATUUZE mu munisipaali  ye Makindye mu kanyogoga Zooni bawanjagidde KCCA okubazimbira Kaabuyonjo olw'okumala ekiseera nga bakozesa kaabuyonjo emu yokka mu kitundu kyabwe.

Okusinziira ku batuuze bagamba nti tebasobola kwesimira kaabuyonjo lwa nsonga ekitundu kyabwe kijjuddemu ensulo nnyingi buli wamu waliwo amazzi ye songa lwaki bavuddeyo ne bawanjagira Gavumenti ebayambe ebazimbire kaabuyonjo ezimanyiddwa nga Mobile Toilets.

Bino babinnyonnyodde ab'ekibiina kya Mambya Foundation ab'ewaddeyo okulongoosa emyala mu kitundu kino ekirimu abantu abawerera ddala emitwalo 4 naye nga bakozesa kaabuyonjo emu.

Aba Mambya Foundation nga balongoosa ekitundu kya Kanyogoga e Makindye

Aba Mambya Foundation nga balongoosa ekitundu kya Kanyogoga e Makindye


Abatuuze bategeezezza nti eky'ennaku ne kaabuyonjo gyebalina emu esasulwa sh;200 buli muntu ate nga si buli maka nti gasobola okuzifuna.
Sentebe wekyalo Sande Masengere yalaze obwelaliikirivu olw'ekitundu ky'akulembera obutabeera na Kaabuyonjo zimala nga mu kiseera kino abatuuze abamu empitambi bagiteeka mu buveera ne baksuka mu myala...
Masengere ategeezezza nti bagezezzaako okutegeka emisomo egy'enjawulo mwebayita okusomesa abatuze ku ngeri ennungi eyokukuuma mu obuyonjo naye embeera eky'agaanyi okutereera. 

Mambya Foundation nga bayonja ekitundu

Mambya Foundation nga bayonja ekitundu

Akulira ekitongole kya Mambya foundation, Oscar Ssenyonga akubirizza abatuuze okukozesa zikaabuyonjo entono zebalina mu kisera kino okusobola okukuuma obuyonjo mu bitundu byabwe.
“Ebyobulamu bitandikira kuffe era mbasaba mukuume obuyonjo okusobola okwewala endwadde ezitali zimu,”yetegeezezza.
Ssenyonga yeyamye okukwataganira awamu n'abakulembeze  be kitundu mu kutumbula eby'obulamu, era n'abasuubiza okubazimbira obuyumba obukyamirwamu