Eggye lya UPDF likkiriziganyizza okussaawo kafiyu e Somalia
May 30, 2023
Omudduumizi w'eggye lya UPDF ery 'okuttaka Lt. Gen. Kayanja Muhanga n'omuduumizi w'eggye lye Somalia bakkanyizza okussaawa Kafiyu

NewVision Reporter
@NewVision
Oluvannyuma lw’okukolebwako obulumbaganyi abagambibwa okuba abatujju b’akabiina ka Al-Shabaab, omuduumizi w’eggye ly’okuttaka mu UPDF-Lt. Gen. Kayanja Muhanga ng’ali wamu n’aduumira amagye e Somalia-Gen. Yusuf Odowaa Rageh, bakkiriziganyizza okussaawo kafiyu ku nguudo ennene okuli oluva e Afgoye okudda e Barawe, mu kitundu kya Shabelle.
UPDF
Bano bagamba nti kino kikoleddwa okusala ku muwendo gw’emmotoka ne ppiki ebibadde bikozesa enguudo zino okutambuza eby’okulwanyisa n’Abatujju ba Al-Shabaab ababafuukidde akayinja mu ngatto.
Bino byatuukidwako ku Mmande, nga May,29th, 2023 mu lukiiko olwatudde mu kitundu ky’e Goloweyn okumpi n’enkambi ya UPDF eyitibwa Forward Operating Base (FOB) ebadde yakalumbibwa.
Kigambibwa nti abatujju babadde batandise omuze gw’okutambuza eby’okulwanyisa ku mmotoka mu budde bw’ekiro era nga by’ebimu ku bye beeyambisizza mu bulunganyi ku nkambi ya UPDF.
UPDF
Kinajjukirwa nti Lt. Gen Kayanja Muhanga yagenda e Somalia, oluvannyuma lw’okuttibwa kw’abajaasi ba UPDF ng’ekigendererwa ekikulu kyakuzuula engeri aba Alshabaab gye baalumbamu e Bulomareer nga May, 26th, 2023.
Mu lugendo luno, Muhanga yawerekedwako Col. Stuart Agaba; Dayirekita w’ebikwekweto mu ggye ly’okuttaka, Col. Elvis Byamukama; ne Lt. Col Albert Kashakamba.
Related Articles
No Comment