America ekubye bannalukalala ba Al Shabaab abasse aba UPDF

AMERIKA eyungudde ennyonnyi zaayo ennwaanyi ez’omutawaana ne zikola ennumba ku nfo za bannalukalala ba Al-Shabab

Emu ku nfo ezaakubiddwa.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

AMERIKA eyungudde ennyonnyi zaayo ennwaanyi ez’omutawaana ne zikola ennumba ku nfo za bannalukalala ba Al-Shabab e Somalia ne zibasesebbula okukkakkana nga libasseemu abalwanyi abawera ne bakamanda baabwe mu kwesasuza obulumbaganyi bwe baakoze bwe basse abajaasi ba UPDF mu ggwanga eryo.
Amerika ng’ekozesa ennyonyi ez’omulembe ezaasimbudde ku kitebe ky’eggye
eryo ekivunaanyizibwa ku nsonga za Afrika mu by’ekijaasi ekisangibwa mu Djibouti okumpi ne Somalia, yakubye enfo za Bannalukalala ba Al Shabaab mu nnumba ezokumukumu ne babuna emiwabo.
Abamu badduse ng’ennimi z’omuliro zibagendera ku migongo okwetaasa ekibabu
era bangi tebaalutonze.
Okwesasuza kwabaddewo ku Ssande nga bannalukalala bano baasoose kulumba ggye lya UPDF ku nkambi ya Buulo Mareer ku Lwokutaano ne batta abajaasi abawera abaalumbiddwa nga teri akisuubidde.
Zaabadde ssaawa 11.00 nga bukya ku olwo, bannalukalala abaabadde nga 800 ne balumba enkambi eyabaddemu abajaasi nga 100 ku 120 ne babayisaamu kabangali ezikubyeko bbomu ezizitowa kiro 50 buli emu ate abajaasi bwe baazikubyemu amasasi abaazibaddemu ne banyiga eppeesa bbomu ne zibwatukira ku mulyango gw’enkambi
abajaasi ne bafa.
Kabangali eyookubiri nayo yalumbye n’eyita eyasoose we yakomye nayo n’etulika ne bbomu zaayo ne bannalukalala abaagibaddemu ne beetulisizaako bbomu enkambi n’efuuka eddwaniro nga n’abajaasi abamu baabadde bawummuddemu olw’obutabagulizibwako.
Berwanyeko kyokka nga bannalukalala basonga busonzi tebaggwayo nga bajja bakekeza ennyago ate nga ne ttanka za UPDF n’ebikompola ebimu ebyabaddewo bikubiddwa bannalukalala olwo abajaasi ne basalawo kudduka mu nkambi okweyongerayo mu yabadde okumpi olwo bannalukalala ne bawamba gye baalumbye.
Pulezidenti Museveni nga ye muduumizi wa UPDF owoku ntikko yategeezezza nti abajaasi bandisobodde okwerwanako kyokka baatidde olw’okuba baabalumbye tebakirowoozezzaako ate ne bwe baagezezzaako okwerwanako,
eby’okulwanyisa bye baabadde nabyo byabaweddekoOkusinziira ku mawulire
ga Voice of Amerika (VOA), eggye lya Amerika lyalumbye mu busungu obungi nga limaze okukakasa nti enkambi ya Bulo Mareer bannalukalala gye baabadde beddiza teriimu bantu baabulijjo, baagikumyeko omuliro bangi ne battibwa.
Bulo Mareer kisangibwa mu pulovinsi ya Lower Shabelle mu Somalia okuliraana
eriyanja lya Buyindi.
Obulumbaganyi bwayonoonye eby’okulwanyisa bye baabadde bawambye, bye bazze nabyo n’ebirala by’oyinza okulowoza okubeera ne bannalukalala abazze batigomya ebitundu by’amawanga g’obuvanjuba bwa Afrika omuli ne Uganda.
Uganda yasindika amagye mu Somalia mu 2007 okutaasa abantu baabulijjo abaali battibwa bannalukalala ate nga balumba ne Uganda nga bwe baakola mu 2010 ne batta abantu be baategamu bbomu nga balaba omupiira gw’ekikopo ky’ensi yonna e Lugogo ne Ethiopian Village e Kabalagala.
Amagye Uganda yagasindikira mu kiti ky’okukuuma emirembe mu kiwendo ekyatuumibwa African Union Mission to Somalia ng’amawanga amalala agaasindika amagye kuliko Burundi, Kenya, Ethiopia ne Djibouti. Amagye ago era ge gazze gataasa Gavumenti ezirondebwa abantu nga bannalukalala baagala okuzigyako bateekeko ezikkiririza mu mateeka ga Sharia. Amerika okulumba, yasoose kukkaanya na
mawanga gonna agali mu kukuuma emirembe mu Somalia