Eyakuba omusuubuzi ppeeva n'amubbako obukadde 3 asindikiddwa mu kkooti nkulu

OMUVUBUKA agambibwa okwekobaana n'ekibinja kya bavubuka ababbisa ppeeva ne bateega omusuubuzi w'ebirime e Namungoona ne bamubba obukadde busatu kkooti ento e Mengo emusindise mu kkooti enkulu

Eyakuba omusuubuzi ppeeva n'amubbako obukadde 3 asindikiddwa mu kkooti nkulu
By Peter Ssuuna
Journalists @New Vision
#Amawulire #Ppeeva

OMUVUBUKA agambibwa okwekobaana n'ekibinja kya bavubuka ababbisa ppeeva ne bateega omusuubuzi w'ebirime e Namungoona ne bamubba obukadde busatu kkooti ento e Mengo emusindise mu kkooti enkulu atandike okuwerennemba n'ogw'obwakkondo.

Odama.

Odama.

Charles Odama y'abadde avunaanibwa mu kkooti ya Nateete Lubaga e Mengo, wabula oluvannyuma lw'oludda oluwaabi okukung’aanya obujulizi, omulamuzi Amon Mugezi amusindise mu kkooti enkulu atandike okwewozaako.

Mu bujulizi obusuubirwa okwesigamizibwako bugamba nti nga November 14, 2022 e Namungoona ku ssaawa 11:00 ez'okumakya, Odama ne banne abatannakwatibwa baakuba Kamada Lwanga ne bamubba ensawo omwali obukadde 3, essimu, n'ebirala era baaleka bamukubye mu mutwe ng'avaamu musaayi.

Yaweereddwa empapula ezimusindika mu kkooti enkulu era n'asindikibwa e Luzira okutuusa ng'ateereddwa ku lukalala lw'abagenda okuwoza.