Amawulire

Eyazaala abaana basatu omusajja n'amuddukako alaajanye

RUTH Daphne Nabakooza 18, abeera Kawempe-Mulago y’awanjagidde abazirakisa okumuyambako okulabirira abaana abasatu be yazaala omulundi gumu bbaawe n’amuddukako.

Maama ng'atubidde n'abaana be
By: Peter Ssuuna, Journalists @New Vision

RUTH Daphne Nabakooza 18, abeera Kawempe-Mulago y’awanjagidde abazirakisa okumuyambako okulabirira abaana abasatu be yazaala omulundi gumu bbaawe n’amuddukako.

Nabakooza agamba nti kyali kiseera kya Covid-19 ng’asoma S.3 n’afuna omusajja gw’atakyajjukira linnya wadde ow’oluganda lwe n’amufunisa olubuto wabula bwe yazaala abaana basatu, omusajja n’abinnyika mu nsuwa n’okutuusa kati abaana ba myezi mwenda taddangamu ku mulaba.

Agamba nti omusajja ono alabika yatya buvunaanyizibwa ky’ava adduka ng’azadde abaana be yali tasuubira era Kati abeera wa nnyina Grace Nalumansi amuyambako okubalabirira wamu n’okusabiriza mu bantu okubayambako.

Asabye Taata w’abaana be okuli abawala babiri n’omulenzi omu, okuvaayo gye yeekukumye ayambe abaana be kuba musaayi gwe era asabye buli amumanyi okusindiikiriza akomewo.

Nsaba Bannayuganda, ebitongole eby’enjawulo okuvaayo okunnyambako nsobole okukuza abaana wamu n’okunoonya omusajja wabula agamba nti n’ekisinga kati okubayuuza, abaana balwadde nga n’ekyokulya akiwammanta.

Oyo yenna alina ky’alina asobola okuyitira ku ssimu zino okuyamba ku baana bano, 0701772231 mu mannya ga Sarah Nakyeyune ne 0700504726 eya nnyina mu mannya ga Bashir Lutaaya.