Paasita Bujjingo owa House of Prayers International asabidde maama Fiina essaala n’amugobamu emizimu gyonna.

Wano Bujingo ng'amaze okusabira maama Fiina.
Paasita Aloysius Bujjingo owa House of Prayers international olumaze okusabira omwoyo gw’omugezi Paul Kato Lubwama e Nkozi mu Kayabwe town Council , atadde emikono ku Slyvia Namutebi amanyiddwa nga maama Fiina n’amusabira nga bw’amugobamu emizimu emikambwe enduulu n’etta abakungubazi.
Maama Fiina alabise nga esaala emusensedde n’awanika n’emikono nga Paasita Bujjingo bw’amugobamu emizimu.