Bbaasi y'essomero lya Mubende Parents S.S eyabise omupiira n'etomera edduka lya 'Hardware' e Bulenga: Abayizi 50 baddusiddwa mu malwaliro nga banyiga biwundu

Jun 16, 2023

Bbaasi y'essomero lya Mubende Parents S.S eyabise omupiira n'etomera edduka lya 'Hardware' e Bulenga: Abayizi 50 baddusiddwa mu malwaliro nga banyiga biwundu

NewVision Reporter
@NewVision

Akabe kagudde e Bulenga ku lw'e Mityana bbaasi y'essomero lya Mubende Parents Secondary School UAM 897C bwe yabise omupiira n'eremererwa okugoba waayo.

Ddereeva agezezzaako okuwugula emmotoka ezibadde mu kkubo okukakkana nga baasi agikubye ekigwo n'etomera edduuka eribadde ku kkubo eriyitibwa God's Mercy Plumbing and Hardware wamu ne pikipiki nnamba UFC 236D ebadde epaakinze okumpi n'edduuka.

Abaana abasabo mu 50 be balumiziddwa nga baddusiddwa mu malwaliro ag'enjawulo e Bulenga okuli; Wyne Stone , Creme Medical Center n'amalala okusobola okufuna obujjanjabi.

Abaana abayisiddwa obubi bbo baddusidddwa mu ddwaliro e Mulago okufuna obujjanjabi obusingawo.

Bbaasi yagwiiridde edduuka ly'ebizimbisibwa

Bbaasi yagwiiridde edduuka ly'ebizimbisibwa

Abamu ku baana abaabuuse n'ebisago

Abamu ku baana abaabuuse n'ebisago

Omu ku baana abaalumiziddwa mu kabenje ng'apooca n'ebisago

Omu ku baana abaalumiziddwa mu kabenje ng'apooca n'ebisago

Related Articles

No Comment

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});