BA ssentebe b’ekibiina kya NRM abatwala munisipaliti ettaano ezikola ekibuga Kampala batongozza kaweefube w’okulondoola ebisuubizo bya Pulezidenti Museveni bye yeeyama okukolera Bannakampala mu kisanja kino 2021-2026, okulaba oba bisobodde okutuukibwako.
Abdallah Kitatta ng'ayogera
“Tetugenda kutunula butunnuzi nga tetulondoola bisuubizo bya Pulezidenti waffe omwagalwa bye yasuubiza bannakampala okulaba nga bitekebwa mu nkola olwo tugende okumalako ekisajja nga abalonzi tebaatulangira nti mwatulimba temulina kye mukoze” Bwatyo Uhuru Nsubuga mmeeya wa Kampala Central era ssentebe wa NRM mu Kampala bweyategezezza.
Bino Uhuru yabyogeredde mu lukung'aana lwa bannamawulire olwatudde ku kitebe kya NRM ekikulu ku Kyadondo mu Kampala leero bwabadde ne banne okuli Nicholas Arinaitwe owa Nakawa , Hajji Hussein Lukyamuzi owa Makindye, Abuddalah Kitatta owa Lubaga ne Godfrey Luwagga owa Kawempe .