Amawulire

Nalya SS Lugazi Campus amaanyi bagatadde mu kwongera kusimba miti gya bibala okukuuma obutonde

Bw’otuuka ku ssomero lya Nalya ss e Lugazi toyinza butakkiriza nti ddala mu butuufu bakoze kya maanyi okulaba nga bakuuma obutonde bw’ensi.

Nalya SS Lugazi Campus amaanyi bagatadde mu kwongera kusimba miti gya bibala okukuuma obutonde
By: Khasifah Naava, Journalists @New Vision

Bw’otuuka ku ssomero lya Nalya ss e Lugazi toyinza butakkiriza nti ddala mu butuufu bakoze kya maanyi okulaba nga bakuuma obutonde bw’ensi.

Abayizi nga bakung'aanya pulasitiika.

Abayizi nga bakung'aanya pulasitiika.

Kiragala akwaniriza waakayingira essomero  ate obucupa n'obuveera nabwo babukozeemu eby’omugaso ebirala .

Okusinziira ku mukulu w’essomero lino, Ritah Mutaawe Mubiru, Nalya ss Lugazi Campus lye limu ku masomero 3 aga Nalya Schools , naye nga lyasooka kuyitibwa Lugazi Mixed School, nga terinneegatta ku ga Nalya ss mu 2010.

Emu ku nnimiro abayizi we balimira.

Emu ku nnimiro abayizi we balimira.

Esomero lino lisangiibwa ku kyaalo Kibubbu mu muluka gw’e Kawolo, Lugazi munisipaali, Buikwe district. Okuva e Lugazi mu town waliwo kkiromita bbiri okutuka ku ssomero lino.

Ebyaliwo nga tebannazimbawo: Kyali kyalo nga tekuli kiriko okuggyako nenimiro za bantu n'ensiko enjereere.

Emiti emikadde egirimu gyasimbibwa abakadde abaasooka okutandikawo essomero lino okuggyako emito egiriwo egy’ebibala nga Ovacado, ebitaffeeri n’emiyembe ebiyamba abaana ate ne ku bibala nga bwe bibawa n’ekisiikirize.

Abayizi n'omusomesa waabwe nga balaga bye bakola mu pulasitiika okumanyisa abantu ku kukuuma obutonde.

Abayizi n'omusomesa waabwe nga balaga bye bakola mu pulasitiika okumanyisa abantu ku kukuuma obutonde.

Wano Nalya ss Lugazi Campus embeera y'obudde bwawo buli kadde ebeera mpeweevu esobozesa omwana okusoma obulungi. Okuviira ddala ggeeti w’etandikira okutuuka essomero we likoma tujjuza miti ,bimuli na muddo.

Essomero liriko ennimiro we balimira nga olusuku, lumonde, Kasooli abaana gwe balya ku wiikendi, tulinawo ennyaanya n'okulima enva endiirwa nga emboga, era nga bino twakabitandika emyaka 3 emabega.

Green school project baagitegera batya?

Baagitegeera ku ntandikwa y'omwaka guno bwe baayitamu nga erimu ku masomero agakkirizibwa okwetaba mu mpaka zino.

Essomero bwe lijjudde kiragala.

Essomero bwe lijjudde kiragala.

OluvaNnyuma lwokubangulwa amawulire ga New vision agabaweebwa bagagabira abayizi nebasoma nebayongera okwetegerezza abalala engeri gyebakumamu obutonde bwensi.

Ekirungi abasomesa bonna Green school project baagitegeera ate era abamu be balirwana baffe ,kati enjiri bagitambuliza ddala bulungi ne wabweru w’essomero.

Kati ate ne Kaliculaamu gye batambulirako erimu okukuuma obutonde bw’ensi era ebayambira ddala okutegeera kaweefube gwe batambuza.

Buli lwa Mmande, basomesa abayizi bonna ebikwata ku pulojekiti eno bwe baba bali ku pareedi. Yategeezezza nti olusoma oluwedde beetaba mu mpaka z’eggwanga lyonna ezikwata ku buttoned bw’ensi era basuubira okuddayo nga June 21, okuddamu okwetaba mu mpaka ezo.

Ekirala, obucupa n’obuveera mu kifo ky’okubyokya, bwe babukungaanya baatandika okubukolamu eby’omugaso nga ebibbo, ebimuli, ensawo n’ebirala era ebimu bazadde ba baana baabwe be babigula.

Omukulu w'essomero lya Nalya ss Luagazi Campus .Ritah Mutaawe Mubiru

Omukulu w'essomero lya Nalya ss Luagazi Campus .Ritah Mutaawe Mubiru

Green project ki jebatunulide.

Oluvanyuma lw'okumanya nti akaveera ka bulabe nnyo twasooka ne tukola obubaasa bwe bipapula era byokulya byonna biteekebwa mu bubaasa si buveera.

 Ekirala tusimbye emiti mingi naddala egy’ebibala omuli amapeera, emiyembe n’ebibala ebirala.

Ekirala twongeddeko nyo n'okusimba enva endiirwa ssaako n'okussa amaanyi mu kusimba ebitooke.

 Abantu ababeetoolodde nabo tebasigadde mabega:

 Wadde nga ennamba ya bayizi esinga obungi ku ssomero lino ya kisulo naye era n’abava awaka mwebali.Abava awaka tubakubiriza okusomesa abasigadde awaka engeri gye balina okukukuumamu obutonde bw’ensi.

Ddayirekita wa Nalya Ss, Dr Livingstone Ddungu

Ddayirekita wa Nalya Ss, Dr Livingstone Ddungu

Abali mu kisulo okumanya nabo kaweefube ono bamwagala nnyo,be batukubiriza nti bazadde baffe bwe babeera bazze katubasomese ku kino oba ku kiri era abazadde bagenda okuddayo n’rekifaananyi ekiri ku ssomero abasinga kaweefube ono bamutadde mu maka gaabwe.

Abaana bangi basomesebwa engeri gye basimbamu ebintu mu bikebe ne mu budeeya era mu maka mangi n’abali awafunda era obasanga nga kaweefube ono bamwetanidde nnyo.  

Pulojekiti tetujikola lwakuba tuli mu Green schools wabula kati tutegedde kiyamba ffe egenda kubeerawo ebbanga lyonna n’abaliddawo.

Bye bafunyeemu mu pulojeketi eno:

Okubangula abayizi ne bategeera nti okukuuma obutonde kikakata ku buli omu.

Balina omukutu ogwa Green school project bayigiddeko bingi abalala bye bakoze era mu maaso awo balina ekirooto eky’okukola olukomera nga bazimbisa bucupa obwo okwongera okutereeza n'okunyiriza abaana mwe bayita.

Bayize engeri y’okukolamu ebintu eby’enjawulo okuva mu buveera n’obucupa obutonde ne bulema kwonooneka.

Sarah Dawukarah omuyizi mu ssomero lino ng’ali mu S3 yagambye nti okusinga batunuulidde nnyo ebiva mu buveera n’obucupa era baluseewo ebiruke omuli obusero, ebimuli by’okumeeza n’ebirala era nga babiguza abazadde bwe bajja okubakyalira.

 

Tags:
Green schools project
Nalya ss Lugazi Campus